YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 16

16
1Ne bava Erimu nga batambula, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batuuka mu ddungu lya Sini, eriri wakati wa Erimu ne Sinaayi, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwokubiri nga bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri.#Kuv 15:24, Zab 106:25, 1 Kol 10:10 2Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni mu ddungu; 3abaana ba Isiraeri ne babagamba nti, “Waakiri olw'omukono gwa Mukama twandifiiridde mu nsi ey'e Misiri, bwe twali tutudde awali entamu ez'ennyama, bwe twali tulya emmere nga tukkuta; kubanga mwatuleeta mu ddungu lino, okutta ekibiina kino kyonna n'enjala.”#Kubal 11:4,5; 20:3,4, Ma 8:3 4Mukama n'alyoka agamba Musa nti, “Laba, nditonnyesa emmere okuva mu ggulu ku lwammwe; n'abantu balifuluma okukuŋŋaanya ekitundu eky'olunaku buli lunaku, ndyoke mbakeme nga banaatambuliranga mu mateeka gange oba tebaatambulirengamu.#Kuv 15:25, Zab 78:24; 105:40, Yok 6:31, 1 Kol 10:3 5Awo olunaatuukanga ku lunaku olw'omukaaga banaateekateekanga gye baliyingiza, era eneesinganga emirundi ebiri gye bakuŋŋaanya buli lunaku.” 6Musa ne Alooni ne bagamba abaana ba Isiraeri bonna nti, “Olweggulo lwe munaamanya nga Mukama ye yabaggya mu nsi ey'e Misiri;#Kuv 7:7 7era enkya lwe munaalaba ekitiibwa kya Mukama; kubanga awulidde bwe mumwemulugunyiza; naffe ffe baani, n'okwemulugunya ne mwemulugunyiza ffe?”#Kubal 16:19 8Musa n'ayogera nti, “Kino kinaabaawo, Mukama bw'anaabawa olweggulo ennyama okulya, n'enkya emmere okukkuta; kubanga Mukama awulidde okwemulugunya kwammwe kwe mumwemulugunyiza; naffe ffe baani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama.” 9Musa n'agamba Alooni nti, “Gamba ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nti, ‘Musembere mu maaso ga Mukama, kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe.’ ” 10Awo, Alooni bwe yali ng'ayogera n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ne batunuulira mu ddungu; laba, ekitiibwa kya Mukama ne kirabika mu kire. 11Mukama n'agamba Musa, ng'ayogera nti, 12“Mpulidde okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri; bagambe, ng'oyogera nti, ‘Olweggulo munaalya ennyama, n'enkya munakkuta emmere; nammwe munaamanya nga nze Mukama Katonda wammwe.’ ”#Kubal 14:27 13Awo olweggulo entiitiri ne ziggwa ne zisaanikira olusiisira. Ku makya, olufu ne lugwa ne lwetooloola olusiisira.#Kubal 11:9,31, Zab 105:40 14Olufu olwagwa bwe lwaggwako, laba, ne wabaawo kungulu w'eddungu akantu akatono akeekulungirivu, akagonvu ng'omusulo naye nga kakwafu. 15Abaana ba Isiraeri bwe baakiraba ne bagambagana bokka na bokka nti, “Kiki kino?” Kubanga tebaamanya bwe kyali. Musa n'abagamba nti, “Eyo ye mmere Mukama gy'abawadde okulya.”#Yok 6:31,49, 1 Kol 10:3#16:15 Kiki kino Mu Lwebbulaniya kyogerwa nga “Maanu.” 16Ekyo kye kigambo ky'alagidde Mukama nti, “Mukuŋŋaanyeeko buli muntu nga bw'alya; buli muntu kkomero emu, ng'omuwendo gw'abantu bammwe bwe guli, buli muntu alibatwalira ab'omu weema ye.”#Kuv 16:36 17Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo, ne bakuŋŋaanya abalala nnyingi, abalala ntono. 18Awo bwe baageranga mu kkomero, eyakuŋŋaanya ennyingi n'atafissaawo, era eyakuŋŋaanya entono n'ateetaaga; baakuŋŋaanya buli muntu nga bw'alya. 19Musa n'abagamba nti, “Omuntu talekaawo okutuusa enkya.”#2 Kol 8:15 20Naye Musa ne batamuwulira; naye abamu mu bo ne balekawo okutuusa enkya, n'ezaala envunyu, n'ewunya: Musa n'abakwatirwa obusungu. 21Ne bakuŋŋaanya buli nkya, buli muntu nga bw'alya; era omusana bwe gwayakanga n'ekereketa. 22Awo olunaku olw'omukaaga bwe lwatuukanga, ne bakuŋŋaanya emirundi ebiri emmere, buli muntu kkomeri bbiri; abakulu bonna ab'ekibiina ne bajja ne bamugamba Musa. 23N'abagamba nti, “Ekyo Mukama kye yayogera nti, ‘Enkya kye kiwummulo ekikulu, Ssabbiiti entukuvu eri Mukama; mwokye bye mwagala okwokya, mufumbe bye mwagala okufumba; yonna esigalawo mweterekere ensibo okutuusa enkya.’ ”#Lub 2:3, Kuv 20:8-11; 31:15; 35:2,3, Leev 23:3 24Ne beeterekera okutuusa enkya, Musa nga bwe yalagira; n'etewunya, so ne mutaba na nvunyu. 25Musa n'ayogera nti, “Mulye eno leero; kubanga leero ye Ssabbiiti eri Mukama; leero temuugirabe mu ttale. 26Mukuŋŋaanye mu nnaku mukaaga; naye ku lunaku olw'omusanvu ye Ssabbiiti, okwo teribeerawo.” 27Awo ku lunaku olw'omusanvu, abamu ku bantu ne bagenda okukuŋŋaanya, ne batagiraba.#Kubal 14:27 28Mukama n'amugamba Musa nti, “Mulituusa wa okugaana okukwata amateeka gange n'ebiragiro byange?#Zab 78:10 29Mulabe, kubanga Mukama abawadde Ssabbiiti, kyava abawa ku lunaku olw'omukaaga emmere ey'ennaku ebbiri; mutuule buli muntu mu kifo kye, tavanga omuntu yenna mu kifo kye ku lunaku olw'omusanvu.” 30Ne bawummulanga abantu ku lunaku olw'omusanvu. 31Ennyumba ya Isiraeri ne bagiyita erinnya lyayo Maanu; ng'efaanana ng'ensigo za jada, enjeru; n'obuwoomerevu bwayo bufaanana ng'emigaati egy'omubisi gw'enjuki.#Kubal 11:7,8 32Musa n'ayogera nti, “Ekyo kye kigambo Mukama kye yalagira nti, ‘Kkomero ejjudde eterekerwe emirembe gyammwe; balyoke balabe emmere gye nnabaliisa mu ddungu bwe nnabaggya mu nsi ey'e Misiri.’ ” 33Musa n'amugamba Alooni nti, “Twala ekibya osse munda kkomero ejjudde maanu, okiteeke mu maaso ga Mukama, ensibo y'emirembe gyammwe.”#Beb 9:4 34Nga Mukama bwe yalagira Musa, bw'atyo Alooni n'akiteeka mu maaso g'obujulirwa, okubeera ensibo.#Kuv 25:16,21; 40:20, Kubal 17:10 35Abaana ba Isiraeri ne baliira maanu emyaka ana (40), okutuusa lwe baatuuka mu nsi ey'abantu; ne balya maanu okutuuka mu nsalo ez'ensi ya Kanani.#Ma 8:2,3, Yos 5:12, 1 Kol 10:3 36Era kkomero kye kitundu eky'ekkumi ekya efa.

Currently Selected:

Okuva 16: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in