YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 15

15
1Musa n'abaana ba Isiraeri ne balyoka bayimbira Mukama oluyimba luno nti,
“Ndimuyimbira Mukama,
kubanga yawangulidde ddala;
Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanga.#Zab 106:12
2Mukama ge maanyi gange,
era lwe luyimba lwange,
Anfuukidde obulokozi bwange;
Ono ye Katonda wange,
nange ndimutendereza;
Ye Katonda wa kitange,
nange ndimugulumiza.#Kuv 3:6, 2 Sam 22:47, Zab 99:5; 118:14, Is 12:2
3Mukama ye muzira okulwana;
Mukama lye linnya lye,#Kuv 3:15, Zab 83:18, Kub 19:11
4Amagaali ga Falaawo n'eggye lye yabisudde mu nnyanja;
N'abakungu be be yalonda basaanyeewo mu Nnyanja Emmyufu.
5Obuziba bubasaanikidde;
Basse mu buziba ng'ejjinja.
6Omukono gwo ogwa ddyo, Mukama,
gwa kitiibwa, gwa maanyi,
Omukono gwo ogwa ddyo, Mukama,
gubetenta omulabe.#Zab 2:9; 118:15,16
7Era mu bukulu obw'okusinga
kwo obasuula abakulumba;
Obusungu bwo bubuubuuka,
ne bubookya ng'ebisasiro.#Ma 33:26, Zab 59:13, Mal 4:1
8N'omukka ogw'omu nnyindo zo, amazzi gatumbiira.
Gayimirira ne gakola ebisenge;
Obuziba bw'ennyanja ne bwekwata ng'ekitole.#Zab 18:15; 78:13
9Omulabe n'ayogera nti,
‘Naagoberera, n'atuuka,
n'atwala omunyago
Byenegomba byonna nja kubiggya kubo;
Naasowola ekitala kyange,
omukono gwange gulibazikiriza.’
10Wakunsa omuyaga gwo,
ennyanja n'ebasaanikira;
Baasaanawo ng'ekyuma mu mazzi ag'amaanyi.
11Ani afaanana nga ggwe, Mukama, mu bakatonda?
Ani afaanana nga ggwe alina ekitiibwa mu butukuvu,
Ow'entiisa mu kutenderezebwa,
akola eby'amagero?#2 Sam 7:22, 1 Bassek 8:23, Zab 77:14; 86:8, Yer 10:6
12Wagolola omukono gwo ogwa ddyo,
Ensi n'ebamira.
13Ggwe mu kisa kyo wabakulembera abantu be wanunula,
N'obaleeta mu maanyi go okutuuka mu kifo kyo ekitukuvu.#Zab 77:15; 78:54
14Amawanga gaawulira, ne gakankana;
Obulumi bwabakwata abatuula mu Bufirisuuti.#Ma 2:25, Zab 48:6
15Abakungu ab'omu Edomu ne
balyoka beewuunya;
Ab'amaanyi ab'omu Mowaabu,
okukankana ne kubakwata;
Abatuula mu Kanani bonna bayenjebuka.#Kubal 22:3, Yos 2:9
16Okutekemuka n'entiisa bibaguddeko;
Mu bukulu obw'omukono gwo batudde ng'ejjinja;
Okutuusa abantu bo lwe balisomoka, Mukama,
Okutuusa abantu lwe balisomoka be wanunula.#Ma 11:25, 1 Sam 25:37, Zab 74:2
17Olibayingiza, olibasimba ku lusozi olw'obusika bwo,
Ekifo kye weerongooseza,
Mukama, okutuula omwo,
Awatukuvu wo, Mukama,
emikono gyo we gyanyweza.#Zab 44:2; 80:8
18Mukama alifuga emirembe n'emirembe.”#Zab 146:10
Oluyimba lwa Miryamu
19Embalaasi za Falaawo ne ziyingira wamu n'amagaali ge, n'abeebagala mu nnyanja, Mukama n'azzaawo amazzi ag'omu nnyanja ku bo; naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja. 20Miryamu, nnabbi, mwannyina Alooni, n'atwala ensaasi mu mukono gwe; abakazi bonna ne bafuluma ne bamugoberera nga balina ensaasi nga bazina.#Balam 11:34, Kubal 26:59, 1 Sam 18:6, Zab 68:25
21Miryamu n'ayimba nti,
“Muyimbire Mukama,
kubanga yawangulidde ddala;
Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanja.”#1 Sam 18:7
Olugenda okutuuka ku Sinaayi (15:22—18:27)
22Musa n'akulembera Isiraeri okuva ku nnyanja emmyufu, ne batuuka mu ddungu ly'e Ssuuli. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu, ne batalaba mazzi. 23Bwe baatuuka e Maala, ne batayinza kunywa ku mazzi gaayo, kubanga gaali gakaawa; Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Maala.#15:23: Maala Mu Lwebbulaniya kitegeeza “ekintu ekikaawa.”#Kubal 33:8, Luus 1:20 24Abantu ne beemulugunyiza Musa, nga boogera nti, “Tunaanywa ki?” 25Musa n'akaabirira Mukama; Mukama n'amulaga omuti, n'agusuula mu mazzi, amazzi ne gafuuka amalungi. Awo we yabaweera etteeka n'ebiragiro, n'abagereza eyo.#Kuv 16:4; 20:20, Ma 8:2,16, Balam 2:22; 3:1,4, 2 Bassek 2:21; 4:41, Zab 66:10; 81:7 26N'ayogera nti, “Bw'oliwulirira ddala eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okola obutuukirivu mu maaso ge, n'owulira amateeka ge, n'okwata by'alagira byonna, sirikuteekako ggwe endwadde zonna ze nnateeka ku Bamisiri; kubanga nze Mukama akuwonya.”#Kuv 23:25, Ma 7:15; 28:27, Zab 103:3
27Ne batuuka mu Erimu, awali ensulo z'amazzi ekkumi n'ebbiri, n'enkindu ensanvu; ne basula awo awali amazzi.#Kubal 33:9

Currently Selected:

Okuva 15: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in