abaana ba Isiraeri ne babagamba nti, “Waakiri olw'omukono gwa Mukama twandifiiridde mu nsi ey'e Misiri, bwe twali tutudde awali entamu ez'ennyama, bwe twali tulya emmere nga tukkuta; kubanga mwatuleeta mu ddungu lino, okutta ekibiina kino kyonna n'enjala.” Mukama n'alyoka agamba Musa nti, “Laba, nditonnyesa emmere okuva mu ggulu ku lwammwe; n'abantu balifuluma okukuŋŋaanya ekitundu eky'olunaku buli lunaku, ndyoke mbakeme nga banaatambuliranga mu mateeka gange oba tebaatambulirengamu.