YouVersion Logo
Search Icon

Omubuulizi 7

7
Ebirowoozo ebikwata ku bulamu
1Erinnya eddungi lisinga amafuta ag'omugavu ag'omuwendo omungi; n'olunaku olw'okufiiramu lusinga olunaku olw'okuzaalirwamu.#Nge 22:1, Mub 4:2 2Okugenda mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu kusinga okugenda mu nnyumba ey'okuliiramu embaga; kubanga eyo ye nkomerero y'abantu bonna; era n'omulamu alikiteeka ku mutima gwe. 3Ennaku zisinga enseko; kubanga obuyinike bw'amaaso bwe busanyusa omutima.#2 Kol 7:10 4Omutima gw'abagezigezi guba mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu; naye omutima gw'abasirusiru guba mu nnyumba ey'ebinyumu. 5Okuwulira okunenya kw'omugezigezi kusinga okuwulira oluyimba olw'abasirusiru.#Zab 141:5 6Kubanga amaggwa nga bwegatulikira wansi w'entamu, n'enseko z'omusirusiru bwe ziba bwe zityo; era n'ezo butaliimu. 7Mazima okunyigiriza kufuula omugezigezi okuba omusirusiru; era enguzi emalamu okutegeera.#Kuv 23:8 8Enkomerero y'ekigambo esinga obulungi okusooka kwakyo; alina omwoyo ogugumiikiriza asinga alina omwoyo ogw'amalala. 9Toyanguyirizanga mu mwoyo gwo okusunguwala, kubanga obusungu bubeera mu kifuba ky'abasirusiru.#Nge 14:17,29 10Toyogeranga nti, “Nsonga ki ennaku ez'edda kyezaavanga zisinga zino?” Kubanga ekyo si kibuuzo kya magezi. 11Amagezi genkana obulungi obusika, weewaawo, gabagasa bonna abalaba enjuba. 12Kubanga amagezi kigo, nga ffeeza bw'eri ekigo, naye okumanya kyekuva kusinga obulungi, kubanga amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.#Nge 3:18 13Lowooza omulimu gwa Katonda; kubanga ani ayinza okuluŋŋamya ekyo ye kye yanyoola?#Mub 1:15; 3:11, Is 14:27 14Osanyukiranga ku lunaku olw'okulabiramu omukisa, era olowoolezanga ne ku lunaku olw'okulabiramu ennaku; Katonda yaliraanya olwo na luli, omuntu alemenga okulaba ekintu kyonna ekiribaawo oluvannyuma lwe.
Abantu ababi n'abalungi
15Ebyo byonna nnabirabira mu nnaku ez'obutaliimu bwange; waliwo omuntu omutuukirivu azikirira mu butuukirivu bwe, era waliwo omuntu omubi n'awangaalira mu kukola kwe obubi.#Mub 6:12; 8:12-14 16Tosukkiriranga kuba mutuukirivu; so teweefuulanga asukkiriza amagezi; lwaki ggwe okwezikiriza wekka?#Bar 12:3 17Tosukkiriranga kuba mubi, so tobanga musirusiru, lwaki ggwe okufa ekiseera kyo nga tekinnatuuka?#Yob 15:32 18Kirungi okwatenga ekyo; weewaawo, na kiri tokiggyaako mukono gwo; kubanga atya Katonda anaavanga mu ebyo byonna.
Okuba n'amagezi
19Amagezi gawa amaanyi omugezigezi okusinga abafuzi kkumi (10) abali mu kibuga.#Nge 21:22, Mub 9:16,18 20Mazima tewali mutuukirivu ku nsi akola ebirungi ebyereere n'atayonoona.#1 Bassek 8:46, Bar 3:23, 1 Yok 1:8 21Era tossaayo mwoyo ku bigambo byonna ebyogerwa; olemenga okuwulira omuddu wo ng'akukolimira; 22kubanga emirundi mingi omutima gwo; gumanyi nga naawe bw'otyo bw'okolimira abalala.
Okuba n'omutima omugezi
23Ebyo byonna nnabigezesa n'amagezi gange; era nnayogera nti, “Ndiba mugezigezi;” naye amagezi ne gambeera wala. 24Ekiriwo kiri wala era kigenda wansi nnyo; ani ayinza okukikebera?#Yob 28:12, Bar 11:33, 1 Tim 6:16
Ekibi ensibuko y'obuzibu bwonna (7:25-29)
25N'akyuka, omutima gwange ne ngumalira ku kumanyanga, n'okukenneenyanga, n'okunoonyanga amagezi n'ensonga z'ebigambo, era n'okumanyanga ng'obubi busirusiru, ate ng'obusirusiru ddalu. 26Era ne ndaba ekigambo ekisinga okufa okubalagala, ye mukazi; omutima gwe byambika n'ebitimba, n'emikono gye giri ng'enjegere; wabula buli asanyusa Katonda alimuwona; naye alina ebibi alikwatibwa ye.#Nge 5:4; 22:14; 23:28 27Laba, kino kye nnalaba, bw'ayogera Omubuulizi, nga nteeka ekigambo ekirala ku kirala okunoonya ensonga, 28emmeeme yange ky'ekyanoonya, naye sinnakiraba. Omusajja omu mu lukumi (1,000) gwe nnalaba; naye omukazi mu abo bonna ssaalabayo n'omu.#1 Bassek 11:3 29Laba, kino kyokka kye nnalaba nga Katonda yakola abantu nga bagolokofu; naye bo ne banoonya bingi bye baagunja.#Lub 1:27; 3:6,7

Currently Selected:

Omubuulizi 7: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in