Omubuulizi 8
8
Obulamu nate wansi w'enjuba (8:1—12:8)
1Ani ali ng'omuntu omugezigezi? Era ani amanyi okunnyonnyola amakulu g'ebintu? Amagezi g'omuntu ganyiriza amaaso ge, n'obukakanyavu bw'amaaso ge ne buwaanyisibwa. 2Nkukuutira ebigambo bino, nti Okwatanga ekiragiro kya kabaka, era kyova okola bw'otyo olw'ekirayiro kya Katonda. 3Toyanguyirizanga kuva w'ali; tolemeranga mu kigambo ekibi; kubanga akola buli ky'ayagala.#Mub 10:4 4Kubanga ekigambo kya kabaka kirina obuyinza; era ani ayinza okumugamba nti, “Okola ki?” 5Buli akwata ekiragiro talibaako kigambo kibi ky'alimanya; n'omutima gw'omuntu omugezigezi gumanya ekiseera n'okuteesa. 6Kubanga buli kigambo ky'oyagala okukola kibaako ekiseera kyakyo n'okuteesa kwakyo; kubanga obuyinike bw'omuntu bumuzitoowerera nnyo.#Mub 3:1,17 7Kubanga tamanyi ekiribaawo, kubanga ani ayinza okumubuulira bwe kiriba?#Mub 10:14 8Tewali muntu alina obuyinza ku mwoyo okuziyiza omwoyo; so talina buyinza ku lunaku olw'okufiiramu; so mu ntalo ezo temuli kusindikibwa, so n'obubi tebulimuwonya oyo abugoberera.#Yob 14:5, Zab 49:6,7 9Ebyo byonna nnabiraba, ne nzisaayo omutima gwange eri buli mulimu ogukolebwa wansi w'enjuba, wabaawo ekiseera omuntu omu bw'abeera n'obuyinza ku mulala olw'okumukola obubi.#Mub 1:13
Abatya Mukama bakola bulungi
10Era nate nnalaba ababi nga babaziika mu ntaana; so nga bagendanga emirundi mingi era bava mu kifo ekitukuvu, baatenderezebwanga mu kibuga kyennyini mwe baakoleranga obubi; baziikibwa mu kitiibwa naye ne beerabirwa mu kibuga, era n'ekyo butaliimu. 11Kubanga omusango ogusalirwa ekikolwa ekibi tebagutuukiriza mangu, omutima gw'abaana b'abantu gweyongerera ddala mu bo okukola obubi.#Es 7:5, Zab 50:21, Bar 2:4,5, 2 Peet 3:9 12Alina ebibi newakubadde ng'akola obubi emirundi kikumi (100) n'awangaala nnyo, era naye mazima mmanyi ng'abo abatya Katonda, banaabanga bulungi, abatya mu maaso ge;#Mub 12:13, Mub 7:15, Is 3:10; 65:20 13naye omubi taabenga bulungi, so taliwangaala nnaku nnyingi eziri ng'ekisiikirize; kubanga tatya mu maaso Katonda.#Yob 14:2, Mub 6:12, Is 3:11 14Waliwo obutaliimu obukolebwa ku nsi; nga waliwo abantu abatuukirivu abagwibwako ebiriŋŋaanga omulimu ogw'ababi; naye era waliwo abantu ababi abagwibwako ebiriŋŋaanga omulimu ogw'abatuukirivu. Ne njogera nti n'ekyo butaliimu.#Yob 21:7, Zab 73:3,12, Yer 12:1 15Awo ne nsiima ebinyumu, kubanga omuntu talina kintu kyonna ekisinga obulungi wansi w'enjuba wabula okulyanga n'okunywanga n'okusanyukanga; kubanga ebyo binaabeeranga naye mu kutegana kwe ennaku zonna ez'obulamu bwe Katonda bw'amuwadde wansi w'enjuba.#Mub 2:24
Omuntu tayinza kumanya makubo gonna aga Katonda
16Bwe nnassaayo omutima gwange okumanya amagezi, n'okulaba emirimu egikolebwa ku nsi, nnazuula nti waliwo abantu abaatafuna tulo mu maaso gabwe emisana n'ekiro. 17Awo ne ndaba omulimu gwonna ogwa Katonda, omuntu nga tayinza kukebera mulimu ogukolebwa wansi w'enjuba. Kubanga omuntu ne bw'ategana atya okugukebera, naye taligulaba; weewaawo, nate omugezigezi ne bw'alowooza okugumanya, nate taliyinza kugulaba.#Zab 73:16, Nge 25:2, Mub 3:11
Currently Selected:
Omubuulizi 8: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.