1
Omubuulizi 7:9
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Toyanguyirizanga mu mwoyo gwo okusunguwala, kubanga obusungu bubeera mu kifuba ky'abasirusiru.
Compare
Explore Omubuulizi 7:9
2
Omubuulizi 7:14
Osanyukiranga ku lunaku olw'okulabiramu omukisa, era olowoolezanga ne ku lunaku olw'okulabiramu ennaku; Katonda yaliraanya olwo na luli, omuntu alemenga okulaba ekintu kyonna ekiribaawo oluvannyuma lwe.
Explore Omubuulizi 7:14
3
Omubuulizi 7:8
Enkomerero y'ekigambo esinga obulungi okusooka kwakyo; alina omwoyo ogugumiikiriza asinga alina omwoyo ogw'amalala.
Explore Omubuulizi 7:8
4
Omubuulizi 7:20
Mazima tewali mutuukirivu ku nsi akola ebirungi ebyereere n'atayonoona.
Explore Omubuulizi 7:20
5
Omubuulizi 7:12
Kubanga amagezi kigo, nga ffeeza bw'eri ekigo, naye okumanya kyekuva kusinga obulungi, kubanga amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.
Explore Omubuulizi 7:12
6
Omubuulizi 7:1
Erinnya eddungi lisinga amafuta ag'omugavu ag'omuwendo omungi; n'olunaku olw'okufiiramu lusinga olunaku olw'okuzaalirwamu.
Explore Omubuulizi 7:1
7
Omubuulizi 7:5
Okuwulira okunenya kw'omugezigezi kusinga okuwulira oluyimba olw'abasirusiru.
Explore Omubuulizi 7:5
8
Omubuulizi 7:2
Okugenda mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu kusinga okugenda mu nnyumba ey'okuliiramu embaga; kubanga eyo ye nkomerero y'abantu bonna; era n'omulamu alikiteeka ku mutima gwe.
Explore Omubuulizi 7:2
9
Omubuulizi 7:4
Omutima gw'abagezigezi guba mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu; naye omutima gw'abasirusiru guba mu nnyumba ey'ebinyumu.
Explore Omubuulizi 7:4