YouVersion Logo
Search Icon

Omubuulizi 6

6
Obulamu okuteganira obwereere
1Waliwo ekibi kye nnalaba wansi w'enjuba, era kizitoowerera abantu;#Mub 5:13 2omuntu Katonda gw'awa obugagga n'ebintu n'ekitiibwa, n'okubulwa n'atabulwa kintu olw'emmeeme ye ku ebyo byonna bye yeegomba, naye Katonda n'atamuwa buyinza kubiryako, naye omugenyi ye abirya; ekyo butaliimu, era ye ndwadde embi.#1 Bassek 3:13, Luk 12:19,20 3Omuntu bw'azaala abaana kikumi (100), n'awangaala emyaka mingi, ennaku ez'emyaka gye ne ziba nnyingi, naye emmeeme ye n'etekkuta birungi, era nate n'ataba na kuziikibwa; njogera ng'omwana omusowole amusinga oyo.#2 Bassek 9:35, Mub 4:3, Is 14:19,20, Yer 22:19 4Kubanga ajjira mu butaliimu n'agendera mu kizikiza, n'erinnya lye libikkibwako ekizikiza; 5wabula newakubadde aba talabye njuba era nga tagitegedde; ono ye aba n'okuwummula okusinga oli. 6Weewaawo, newakubadde ng'awangaala emyaka lukumi (1,000) emirundi ebiri, naye n'atasanyukira birungi, bonna tebadda mu kifo kimu? 7Okutegana kwonna okw'omuntu kuba kw'akamwa ke, wabula okwegomba kwe tekukkuta.#Nge 16:26 8Kubanga omugezigezi asinga atya omusirusiru? Oba omwavu amanyi okutambulira mu maaso g'abalamu alina ki?#Mub 2:15 9Okulaba n'amaaso kwe kusinga okutambulatambula n'omwoyo ogwegomba; era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.
Okumanya ekisaanira
10Buli ekyabaawo, erinnya lyakyo lyatuumibwa dda, era kimanyibwa nga muntu, so omuntu tayinza kuwakanya oyo amusinga amaanyi.#Yob 9:32, Mub 1:10; 3:15, Is 45:9, 1 Kol 10:22 11Kubanga waliwo ebintu bingi ebyogera ku butaliimu, kale omuntu yeeyongera atya okugasa? 12Kubanga ani amanyi ekisaanira omuntu mu bulamu bwe, ennaku zonna ez'obulamu bwe obutaliimu bw'amalawo ng'ekisiikirize? Era ani ayinza okubuulira omuntu ebinaabangawo oluvannyuma lwe wansi w'enjuba?#Yob 14:2, Mub 3:22; 8:13

Currently Selected:

Omubuulizi 6: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in