Ekyamateeka Olwokubiri 24
24
Ebikwata ku mukazi agobeddwa bba
1“Omusajja bw'awasanga omukazi, n'ataganja mu maaso ge, kubanga alabye ekitali kirungi ku ye, bba anaamuwandiikiranga ebbaluwa, n'agimukwasa.#Mat 5:31; 19:7, Mak 10:4 2Omukazi agobeddwa bw'atyo ayinza okugenda n'afumbirwa omusajja omulala. 3Bba ow'okubiri naye bw'amukyawanga n'amuwandiikira ebbaluwa ey'okumugoba n'agimukwasa, n'amugoba mu nnyumba ye; oba bba oyo bw'afanga; 4bba ow'olubereberye eyamugoba tamuddiranga, kuba yamala okumwonoona; ekyo kya muzizo mu maaso ga Mukama; temukolanga kibi bwe kityo, muleme okwonoona ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka.”#Yer 3:1
Amateeka agatali gamu
5“Omusajja bw'abanga yakawasa, talondebwanga kutabaala mu lutalo, so takozesebwanga mulimu gwonna ogwa lukale okumala omwaka mulamba; anaalekebwanga, n'abeera awaka ng'asanyusa mukazi we.#Nge 5:18 6Omuntu yenna taasingirwenga lubengo oba enso, ebikozesebwa mu kusa emmere; kuba kifaanana nga okusingirwa obulamu bw'omuntu.”
7“Omuisiraeri bw'anawambanga mu Isiraeri munne n'amufuula omudduwe oba n'amutunda okuba omuddu, omuwambi oyo anattibwanga. Bwe mutyo bwe munaggyangawo ekibi ekyo.”#Kuv 21:16
8“Bw'olwalanga endwadde ey'ebigenge, wegenderezanga nnyo n'okolera ddala byonna bakabona Abaleevi bye banaakugambanga, nga bwe nnabalagira.#Leev 13:2-59; 14:2-57, Mak 1:44 9Jjukira Mukama Katonda wo bye yakola Miryamu mu kkubo bwe mwali muva e Misiri.”#Kubal 12:10
10“Bw'oyazikanga muntu munno ekintu kyonna, toyingiranga mu nnyumba ye kuggyayo kyambalo ky'akuwa ng'omusingo, 11naye obeeranga bweru, gw'oyazise n'akuleetera omusingo ogwo. 12Era gw'oyazise bw'abeeranga omwavu tosulanga n'omusingo gwe. 13Ekyambalo kye eky'omusingo okimuddizanga akawungeezi asobole okukisulamu, alyoke akusabire omukisa; era ne Mukama Katonda wo alyoke akusiime.”#Kuv 22:26,27, Ma 6:25, Yob 24:7; 31:19,20, Zab 112:9
14“Tolyazaamanyanga mpeera y'amukozi wo omwavu, mu nnaggwanga oba Omuisiraeri, abeera mu bibuga byammwe.#Leev 25:39-43, Mal 3:5 15Onoomusasulanga empeera y'olunaku lw'akoze ng'enjuba tennagwa, kubanga empeera ye agyetaaga, era ab'alindiridde okugifuna; alemenga okukabirira Mukama ng'akuwawaabira n'obaako omusango.”#Leev 19:13, Ma 15:9, Yer 22:13, Yak 5:4
16“Abazadde tebattibwenga lwa misango giziddwa baana baabwe, so n'abaana tebattibwenga lwa misango giziddwa bazadde baabwe. Naye omuntu anattibwanga lwa musango gw'azizza ye yennyini.”#2 Bassek 14:6, Yer 31:29,30, Ez 18:20
17“Tosalirizanga, mu nnaggwanga oba mulekwa, era tosingirwanga kyambalo kya nnamwandu.#Kuv 22:21,22, Yob 24:3, Is 1:23, Yer 5:28, Mal 3:5 18Jjukira nga wali muddu mu misiri, Mukama Katonda wo n'akununula n'akuggyayo; kyenva nkulagira okukolanga bw'otyo.”#Ma 5:15
19“Bw'okungulanga ebikungulwa mu nnimiro yo ne weerabira ekinywa mu nnimiro, ne weerabirayo ekinywa, toddangayo kukikima; kinaabanga kya munnaggwanga, mulekwa ne nnamwandu. Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu mirimu gyo gyonna gy'okola.”#Leev 19:9; 23:22, Ma 14:29
20“Bw'okubanga ebibala by'emizeyituni gwo, toddangayo lwakubiri kukuba ebisigaddeko. Ebyo, binaabanga bya mu nnaggwanga, mulekwa ne nnamwandu 21Bw'okungulanga ezabbibu mu lusuku lwo toddangamu mulundi gwa kubiri; ezisigaddemu zinaabanga za mu nnaggwanga, mulekwa ne nnamwandu.#Leev 19:10 22Jjukira nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, kye nva nkulagira okukolanga bw'otyo.”
Currently Selected:
Ekyamateeka Olwokubiri 24: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.