YouVersion Logo
Search Icon

Ekyamateeka Olwokubiri 23

23
Abantu abatakkirizibwenga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama
1Eyalaayibwa, oba eyasalibwako ebitundu by'omubiri gwe eby'ekyama, tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
2Omwana omwebolereze tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusiza ddala ku mirembe ekkumi, tewabangawo ku bazzukulu be abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
3Omwamoni n'Omumowaabu tebayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusiza ku mirembe ekkumi, tewabangawo ku bazzukulu baabwe abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama ennaku zonna:#Luus 4:5 4kubanga baagaana okubawa emmere n'amazzi bwe mwali muli mu lugendo nga muva e Misiri era kubanga bagulirira Balamu omwana wa Byoli okumuggya mu Pesoli eky'omu Mesopotamiya okubakolimira, tebaabasisinkana mu kkubo nga balina emmere n'amazzi, bwe mwava mu Misiri; era kubanga baawerera Balamu omwana wa Byoli okumuggya mu Pesoli eky'omu Mesopotamiya, 5Kubanga Mukama Katonda wammwe yabaagala, n'agaana okuwulira Balamu; naye n'afuula ekikolimo kye okuba omukisa gye muli.#Kubal 23:11; 24:10, Nge 26:2 6Ennaku zonna temukolereranga kuleetawo mirembe na bantu abo, wadde okubayamba okuba obulungi.#Ezer 9:12
7Temukyawanga ba Edomu; kubanga baganda bammwe; so temukyawanga Bamisiri, kubanga mwali bagenyi mu nsi yaabwe.#Lub 25:24-26, Kuv 22:21; 23:9, Leev 19:34, Kubal 20:14 8Bazzukulu baabwe bannakabirye banaakkirizibwanga okuyingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
Okukuuma olusiisira lw'eggye nga luyonjo
9Bwe mubeeranga mu nsiisira mu biseera eby'entalo mwewalenga ekintu kyonna ekiyinza okubafuula abatali balongoofu. 10Bwe wanaabangawo mu mmwe omusajja afuuse atali mulongoofu olw'okwerooterera ekiro, anaafulumanga olusiisira, n'abeera ebweru waalwo.#Leev 15:16 11Naye obudde bwe bunaabanga buwungeera, anaanaabanga, n'akomawo mu lusiisira ng'enjuba egudde. 12Era munaabeeranga ne kabuyonjo ebweru w'olusiisira, gye munaafulumanga. 13Era onoobanga n'ekifumu mu bintu byo; bw'onoofulumanga okweteewuluza onoosimanga ekinnya, oluvannyuma n'oziika mu ekyo ekinakuvangamu ng'omaze okweteewuluza. 14Munaakuumanga olusiisira lwammwe nga luyonjo, kubanga Mukama Katonda wammwe anaabeeranga wamu nammwe mu lusiisira okubakuuma, n'okubasobozesa okuwangula abalabe bammwe. Mwewalenga buli ekitali kirongoofu, ekiyinza okumunyiiza, n'abakuba amabega.#Leev 26:12
Amateeka ku bintu ebitali bimu
15Tozzangayo muddu eyabomba ku Mukama we n'ajja gy'oli okumukuuma.#1 Sam 30:15 16Anaabeeranga naawe mu nnyumba yo nga bw'anaasimanga; tomujooganga.
17Tewabanga mwenzi ku bakazi ba Isiraeri, so tewabanga alya ebisiyaga ku basajja ba Isiraeri.#Leev 19:29, 1 Bassek 14:24, 2 Bassek 23:7 18Ensimbi ezifuniddwa omukazi oba omusajja mu bwenzi obw'omu Yeekaalu, temuzireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wammwe okutuukiriza obweyamo, kubanga Mukama Katonda akyayira ddala obwenzi obwengeri eyo.
19Temuggyanga magoba ku baganda bammwe be muwola ensimbi, oba mmere, oba ekintu ekirala kyonna;#Kuv 22:25, Leev 25:36,37, Nek 5:10, Zab 15:5 20naye si kibi okuwola bannamawanga ne mubaggyako amagoba; naye baganda bammwe temubawolanga ne mubaggyako amagoba; Mukama Katonda wammwe alyoke abawenga omukisa mu byonna bye munaakolanga, mu nsi gye mugenda okutuulamu.#Ma 15:3,10
21Bwe muneeyamanga obweyamo eri Mukama Katonda wammwe, temulwangawo kubutuukiriza; kubanga Mukama Katonda wammwe talirema ku bubabuuza ne kifuuka ekibi gye muli.#Kubal 30:2, Mub 5:4,5 22Naye bwe muteeyamenga tewaabengako kibi kye mukoze. 23Ekyo kye muneeyamanga n'emimwa gyammwe nga mweyagalidde mukikuumanga ne mukituukiriza.#Zab 66:13,14
24Bw'oyingira mu lusuku lwa munno, olw'emizabbibu, si kibi okulya ezabbibu n'okkuta nga bw'oyagala; naye togitwalirangako mu kintu kyonna.#Mak 2:23
25Bw'onoogendanga mu nnimiro ya munno ey'eŋŋaano etennakungulwa, si kibi okunoga ebirimba n'engalo zo n'olya; naye tosalanga n'ekiwabyo eŋŋaano ya munno etennakungulwa.

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in