YouVersion Logo
Search Icon

Ekyamateeka Olwokubiri 25

25
1“Bwe wabangawo enkayana mu Baisiraeri ne bagenda eri omulamuzi okubatawulula, omulamuzi anaalaganga ku bombi omutuufu n'omusobya. 2Omusobya bw'anaaweebwanga ekibonerezo eky'okukubwa emiggo, omulamuzi anaalagiranga n'agalamira, n'akubirwa mu maaso ge emiggo egigya mu musango gw'azzizza. 3Ekibonerezo tekissukenga miggo ana (40). Muganda wo oleme ku muweebuula nnyo mu bantu banne.”#2 Kol 11:24
4“Tosibanga mumwa gwa nte ng'ewuula.”#Nge 12:10, 1 Kol 9:9, 1 Tim 5:18
Omusajja ky'ateekwa okukolera muganda we afudde nga tazadde
5“Abasajja ab'oluganda bwe banaabanga ab'obutaka obumu, omu kubo n'afa nga tazadde mwana wa bulenzi, nnamwandu we taafumbirwenga musajja mulala atali wa luganda lwa mufu. Muganda w'omufu oyo anaawasanga nnamwandu n'amukolera ekyo muganda w'omusajja ky'ateekwa okukolera mulamu we. Ab'oluganda bwe banaabeeranga awamu, omu ku bo n'afa, nga talina mutabani, omukazi w'oyo afudde tafumbirwanga walala atali wa luganda: muganda wa bba ayingire gy'ali, amuwase, amukolere ebigwanira muganda wa bba.#Lub 38:8, Luus 1:12,13, Mak 12:19 6Awo olunaatuukanga, omubereberye gw'alizaala y'anaasikiranga erinnya lya muganda we eyafa, erinnya lye liremenga okusangulibwa okuva mu Isiraeri.#Lub 38:9, Luus 4:5,10 7Naye omusajja oyo bw'abanga tayagala kuwasa nnamwandu wa muganda we, nnamwandu oyo anaagendanga ku mulyango gw'ekibuga eri abakadde, n'abagamba nti, ‘Mulamu wange agaanye okubbula erinnya lya muganda we mu Isiraeri. Tayagala kukola ekyo muganda w'omufu ky'ateekwa okukolera mulamu we.’ 8Kale abakadde b'omu kibuga kyabwe banaamuyitanga ne bamubuuza, bw'anaakakasanga nti, ‘Ssaagala kumuwasa,’#Luus 4:6 9Nnamwandu wa muganda we anajjanga w'ali mu maaso g'abakadde, n'amunaanulamu engatto mu kigere ekimu, n'amuwandira amalusu mu maaso, ng'agamba nti, ‘Omusajja agaana okuzaalira muganda we omusika, bw'atyo bw'ayisibwa!’#Kubal 12:14, Luus 4:7 10Era erinnya lye liyitibwenga mu Isiraeri nti, ‘Nnyumba y'oyo eyanaanulwamu engatto.’ ”
Amateeka amalala
11“Abasajja babiri bwe banaabanga balwanagana bokka na bokka, mukazi w'omu ku bo n'ajja okutaasa bba, n'agolola omukono n'akwata ebitundu eby'ekyama eby'omusajja alwana ne bba; 12omukazi oyo atemwangako omukono awatali kusaasirwa.”
13“Tokozesanga bipima bibiri byanjawulo; ekituufu n'ekitali kituufu,#Leev 19:35,36, Nge 16:11, Ez 45:10, Mi 6:11 14Tobanga na bigera bibiri, ekituufu n'ekitali kituufu mu nnyumba yo. 15Okozesanga ebipima n'ebigera ebituufu, olyoke owangalirenga mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, ennaku zo zibe nnyingi mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.#Ma 4:40 16Kubanga Mukama Katonda akyawa bonna abakumpanya.”#Ma 18:12, Nge 11:1; 20:23
Ekiragiro ky'okutta Abamaleki
17“Jjukira Abamaleki bye bakukola mu kkubo bwe mwali muva e Misiri;#Kuv 17:8, 1 Sam 15:2 18bwe babalumba mu kkubo nga mukooye, ne batatya Katonda, ne batta bonna abaali basembyeyo emabega abaali basenvula.#Yos 10:19 19Awo olulituuka, Mukama Katonda wammwe bw'alimala okubawa emirembe, nga muwangudde abalabe bammwe bonna ababeetoolodde, nga mutudde mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka, temwerabiranga kusaanyizaawo ddala Abamaleki baleme kujjukirwa ku nsi.”#Kuv 17:14, 1 Sam 15:3

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in