1 Abasessaloniika 4
4
Okuyigiriza n'okubuulirira
1Eky'enkomerero, ab'oluganda, tubeegayirira era tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu, nga bwe mwatuyigirako bwe kibagwanira okutambulanga n'okusiimibwanga Katonda, era nga bwe mutambula, mweyongerenga bwe mutyo. #2 Bas 3:6 2Kubanga mumanyi ebiragiro bwe biri bye twabawa ku bwa Mukama waffe Yesu. 3Kubanga ekyo Katonda ky'ayagala, okutukuzibwa kwammwe, okwewalanga obwenzi;#1 Bas 5:23, Beb 10:10, 1 Peet 1:16 4buli muntu ku mmwe ateekwa okumanyanga okufuga omubiri gwe ye mu butukuvu n'ekitiibwa. 5Temufugibwanga mululu ogw'okwegomba, era ng'amawanga agatamanyi Katonda.#Baf 2:16, Zab 79:6 6Omuntu yenna alemenga okwonoona muganda we newakubadde okumusobyako mu kigambo ekyo, kubanga Mukama waffe awalana eggwanga ery'ebyo byonna, era nga bwe twasooka okubabuulira n'okubategeereza ddala. #Bik 18:5 7Kubanga Katonda teyatuyitira bugwagwa, wabula kubeera mu butukuvu.#2 Bas 2:13,14 8Kale agaana tagaana muntu, wabula Katonda, abawa Omwoyo gwe Omutukuvu.#Luk 10:16, Ez 36:27; 37:14
9Naye ebikwata ku by'okwagalanga ab'oluganda, temwetaaga muntu yenna kubawandiikira, kubanga mmwe mwekka mwayigirizibwa Katonda okwagalananga.#Yok 13:34, Yer 31:33,34 10Kubanga ddala mwagala ab'oluganda bonna ab'omu Makedoni yonna. Naye tubabuulirira ab'oluganda, okweyongeranga okusukkirira;#2 Bas 3:4 11era mwegombe okukkakkananga, n'okukolanga emirimu n'emikono gyammwe, nga bwe twabalagira.#Bef 4:28, 2 Bas 3:8,12 12Mulyoke mubenga n'ekitiibwa eri ab'ebweru, nga temuliiko kye mwetaaga.#Bak 4:5, 1 Kol 5:12,13
Okujja kwa Mukama Waffe
13Naye tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, eby'abo abeebaka; mulemenga okunakuwala, era ng'abalala abatalina ssuubi.#1 Kol 15:20, Bef 2:12 14Kubanga bwe tukkiriza nga Yesu yafa n'azuukira, era Katonda alikomyawo bw'atyo abeebaka ku bwa Yesu wamu naye.#Bar 4:9, 1 Kol 15:3,4,12 15Kubanga ekyo kye tubabuulira mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abeebaka.#1 Kol 15:51; 7:10,25 16Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n'okwogerera waggulu n'eddoboozi lya malayika omukulu n'ekkondeere lya Katonda, n'abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira.#1 Kol 15:52, 2 Bas 1:7 17Naffe abaliba bakyali abalamu ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.#Yok 12:26; 17:24 18Kale musanyusaganenga mwekka na mwekka n'ebigambo bino.
Currently Selected:
1 Abasessaloniika 4: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.