YouVersion Logo
Search Icon

1 Abasessaloniika 5

5
Mwetegekere okudda kwa Mukama Waffe
1Naye eby'entuuko n'ebiro, ab'oluganda, temwetaaga kubiwandiikirwa. #Mat 24:36 2Kubanga mwekka mumanyidde ddala ng'olunaku lwa Mukama waffe lujja ng'omubbi bw'ajja ekiro. #Mat 24:42-44, 2 Peet 3:10, Kub 3:3; 16:15 3Bwe baliba nga boogera nti, “Mirembe, tewali kabi,” okuzikiriza okw'amangu ne kulyoka kubajjira, ng'okulumwa bwe kujjira omukazi ali olubuto; so tebaliwona n'akatono.#Yer 6:14, Yok 16:21,22, Mat 24:39, Luk 21:34,35 4Naye mmwe, ab'oluganda, temuli mu kizikiza, olunaku luli okubasisinkaniriza ng'omubbi: 5kubanga mmwe mwenna muli baana ba kutangaala, era muli baana ba musana, tetuli ba kiro newakubadde ab'ekizikiza.#Bar 13:12, Bef 5:9 6Kale nno tulemenga okwebaka ng'abalala, naye tutunulenga tulemenga okutamiira. 7Kubanga abeebaka beebaka kiro; n'abatamiira batamiira kiro. 8Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira, era twambale eky'omu kifuba okukkiriza n'okwagala, n'enkuufiira, essuubi ly'obulokozi.#Bef 6:14-17, Is 59:17 9Kubanga ffe Katonda teyatuteekerawo busungu, wabula okuweebwa obulokozi ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo,#1 Bas 1:10, 2 Bas 2:14 10eyatufiirira ffe, bwe tutyo bwe tutunula oba bwe twebaka tulyoke tubeere abalamu wamu naye.#1 Bas 4:14, Bar 14:8,9 11Kale musanyusaganenga, era muzimbaganenga buli muntu munne, era nga bwe mukola.#Yud 20
Ebisembayo
12Naye tubeegayirira, ab'oluganda, okumanyanga abafuba okukola emirimu mu mmwe, ababafuga mu Mukama waffe, abababuulirira;#1 Kol 16:18, 1 Tim 5:17 13n'okubassangamu ekitiibwa ennyo nnyini mu kwagala olw'omulimu gwabwe. Mubeerenga n'emirembe mu mmwe. 14Era tubabuulirira, ab'oluganda, munenyenga abatatambula bulungi, mugumyenga abalina omwoyo omunafu, muyambenga abatalina maanyi, mugumiikirizenga eri bonna.#2 Bas 3:6,11,14,15 15Mulabe omuntu yenna alemenga okuwalana ekibi olw'ekibi; naye ennaku zonna mugobererenga ekirungi mwekka na mwekka n'eri bonna.#Nge 20:22, Bar 12:17, 1 Peet 3:9 16Musanyukenga ennaku zonna;#Baf 4:4 17musabenga obutayosa;#Luk 18:1, Bar 12:12 18mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna, kubanga ekyo Katonda ky'abaagaliza mu Kristo Yesu gye muli.#Bef 5:20 19Temuzikizanga Mwoyo;#1 Kol 14:1,29,30,39 20temunyoomanga bunnabbi. 21Mugezese ebintu byonna, munywerezenga ddala ekirungi;#1 Yok 4:1 22mwewalenga buli ngeri ya bubi.#Yob 1:1,8; 2:3
23Era Katonda ow'emirembe yennyini abatukulize ddala; era omwoyo gwammwe n'obulamu n'omubiri byonna awamu bikuumibwenga awatali kunenyezebwa mu kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo.#2 Bas 3:16 24Abayita mwesigwa, n'okukola ye alikola.#1 Kol 1:9, 2 Bas 3:3
25Ab'oluganda, mutusabirenga.#2 Bas 3:1
26Mulamuse ab'oluganda bonna n'okunywegera okutukuvu.#1 Kol 16:20 27Mbalayiza Mukama waffe okusomera ebbaluwa eno ab'oluganda bonna.
28Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga wamu nammwe.

Currently Selected:

1 Abasessaloniika 5: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in