1 Abasessaloniika 3
3
1Bwe tutaayinza kwongera kugumiikiriza, kyetwava tulowooza okulekebwa fekka emabega mu Asene.#Bik 17:14,15 2Era ne tutuma Timoseewo muganda waffe era omuweereza wa Katonda mu njiri ya Kristo, okubanyweza n'okubagumya mu kukkiriza kwammwe;#Bik 16:1-3 3omuntu yenna aleme okusagaasagana olw'okubonaabona kuno; kubanga mwekka mumanyi ng'ekyo kye twateekerwawo.#Bef 3:13, 2 Tim 3:12, 2 Bas 1:4 4Kubanga mazima, bwe twali gye muli, twababuulira olubereberye nga tugenda okubonaabona; era bwe kyali bwe kityo era nga bwe mumanyi.#2 Bas 3:10, Bik 14:22 5Olw'ensonga eno, bwe ssaayinza kugumiikiriza nate, kyennava ntuma, ndyoke mmanye okukkiriza kwammwe bwe kuli, nga ntya nti mpozzi omukemi oyo yabakema okufuba kwaffe ne kuba okw'obwereere.#Baf 2:16 6Naye Timoseewo kaakano bwe yajja gyetuli ng'ava gye muli, n'atuleetera ebigambo ebirungi eby'okukkiriza n'okwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi ennaku zonna, nga mutulumirwa okutulaba, era nga ffe bwe tubalumirwa mmwe;#Bik 18:5 7olw'ekyo ab'oluganda, mu kulaba ennaku n'okubonaabona kwaffe kwonna, tuzibwamu nnyo amaanyi olw'okukkiriza kwammwe. #2 Bas 1:4 8Kubanga kaakano tuli balamu, mmwe bwe muyimirira nga muli banywevu mu Mukama waffe. 9Kubanga kwebaza ki kwe tuyinza okusasula Katonda ku lwammwe, olw'essanyu lyonna lye tusanyuka ku lwammwe mu maaso ga Katonda waffe; 10emisana n'ekiro nga tusaba nnyo nnyini okulaba ku maaso gammwe, n'okutuukiriza ebikyabulako mu kukkiriza kwammwe?
11Naye Katonda yennyini era Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu aluŋŋamye ekkubo lyaffe okujja gye muli.#2 Bas 2:16 12Nammwe Mukama waffe abongerengako era abasukkirizenga okwagalananga mwekka na mwekka, n'okwagalanga abantu bonna, era nga naffe bwe tubaagala mmwe. 13Alyoke anywezenga emitima gyammwe nga tegiriiko kya kunenyezebwa mu butukuvu, mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe, mu kujja kwa Mukama waffe Yesu wamu n'abatukuvu be bonna.#Baf 1:10, 2 Bas 1:7,10
Currently Selected:
1 Abasessaloniika 3: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.