Yalina obulamu obw'Obwakatonda,
kyokka teyalemera
ku kwenkanankana ne Katonda,
wabula yeggyako ekitiibwa,
n'afuuka omuweereza.
Yeefuula omuntu nga ffe.
Era bwe yessa ku mutindo gw'abantu,
ne yeetoowaza, n'aba muwulize
n'atuukira ddala ku kufa,
ate okufa okw'oku musaalaba.