1
ABAFILIPPI 3:13-14
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Abooluganda, mmanyi nti sinnakifuna, naye kye nkola, kwe kwerabira eby'emabega, ne nduubirira ebiri mu maaso. Ŋŋenda mu maaso, ntuuke ku kiruubirirwa, awali ekirabo eky'obulamu obw'omu ggulu, Katonda kye yampitira mu Kristo Yesu.
Compare
Explore ABAFILIPPI 3:13-14
2
ABAFILIPPI 3:10-11
Kye njagala kwe kutegeera Kristo era n'okutegeera amaanyi agava mu kuzuukira kwe. Njagala okugabana ku kubonaabona kwe, era n'okumufaanana mu kufa kwe, nga nsuubira nti nange ndizuukira.
Explore ABAFILIPPI 3:10-11
3
ABAFILIPPI 3:8
Ddala ebintu byonna nabiraba ng'okufiirwa, kubanga okutegeera Kristo Mukama wange, kisinga ebirala byonna. Olwa Kristo nafiirwa ebintu byonna, era mbiraba ng'ebisasiro olw'okufuna Kristo ng'empeera yange
Explore ABAFILIPPI 3:8
4
ABAFILIPPI 3:7
Naye ebyo byonna ebyali eby'omugaso gye ndi, nabiraba ng'okufiirwa olwa Kristo.
Explore ABAFILIPPI 3:7