1
1 ABAKORINTO 2:9
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Naye nga bwe kyawandiikibwa: “Ebyo eriiso bye litalabangako, n'okutu bye kutawulirangako, era ebitalowoozebwangako muntu n'omu, by'ebyo Katonda bye yategekera abamwagala.”
Compare
Explore 1 ABAKORINTO 2:9
2
1 ABAKORINTO 2:14
Naye omuntu atafugibwa Mwoyo wa Katonda, tasobola kukkiriza bya Mwoyo wa Katonda, kubanga abiraba ng'eby'obusirusiru. Era tayinza kubitegeera, kubanga byekenneenyezebwa muntu alina Mwoyo wa Katonda.
Explore 1 ABAKORINTO 2:14
3
1 ABAKORINTO 2:10
Kyokka ffe, Katonda ng'ayita mu Mwoyo we, yatumanyisa ekyama ekyo, kubanga Mwoyo anoonyereza buli kintu, n'ekyo ekiri mu Katonda yennyini.
Explore 1 ABAKORINTO 2:10
4
1 ABAKORINTO 2:12
Tetwaweebwa mwoyo gwa ku nsi kuno, wabula twaweebwa Mwoyo eyava ewa Katonda, tulyoke tutegeerenga ebyo Katonda by'atuwa.
Explore 1 ABAKORINTO 2:12
5
1 ABAKORINTO 2:4-5
Era mu kwogera kwange ne mu kuyigiriza kwange, temwalimu bigambo bya magezi ebisendasenda, wabula mwalimu amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu, okukkiriza kwammwe kuleme kunywerera ku magezi ga bantu buntu, wabula ku maanyi ga Katonda.
Explore 1 ABAKORINTO 2:4-5