1
Zabbuli 142:5
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Nnakukoowoola ggwe, Ayi Mukama; N'ayogera nti, “Ggwe oli kiddukiro kyange, Omugabo gwange mu nsi ey'abalamu.
Compare
Explore Zabbuli 142:5
2
Zabbuli 142:7
Oggyeemu emmeeme yange mu kkomera, nneebazenga erinnya lyo; Abatuukirivu balinneetooloola; Kubanga olinkolera eby'ekisa ekingi.”
Explore Zabbuli 142:7
3
Zabbuli 142:3
Omwoyo gwange bwe gunakuwala, ggwe omanyi ekkubo lyange. Bakwese omutego mu kkubo lye ntambuliramu.
Explore Zabbuli 142:3
4
Zabbuli 142:1
Nkaabira Mukama n'eddoboozi lyange; N'eddoboozi lyange nneegayirira Mukama.
Explore Zabbuli 142:1
5
Zabbuli 142:6
Owulire okukaaba kwange; kubanga njeezebwa nnyo, Omponye eri abo abanjigganya; kubanga bansinga amaanyi.
Explore Zabbuli 142:6