Bw'onookyusanga ekigere kyo okuva ku Ssabbiiti
obutakolanga by'oyagala ggwe ku lunaku lwange olutukuvu;
Ssabbiiti n'ogiyita essanyu,
olunaku lwa Mukama olutukuvu olw'ekitiibwa;
n'ogissangamu ekitiibwa, nga tokwata makubo go ggwe,
so nga tonoonya by'oyagala ggwe, era nga toyogera bigambo byo ggwe:
kale n'olyoka osanyukira Mukama;
nange ndikwebagaza ku bifo ebigulumivu eby'ensi;
era ndikuliisa obusika bwa Yakobo kitaawo,
kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.