Isaaya 58:6-7
Isaaya 58:6-7 LBR
Kuno si kwe kusiiba kwe nnalonda? okusumulula ebisiba eby'ekyejo, okufunduukulula emigwa egy'ekikoligo, n'okuteera ddala abajoogebwa, era mumenye buli kikoligo? Si kugabira bayala emmere yo, n'oleeta abaavu abagobebwa mu nnyumba yo? bw'olabanga ali obwereere n'omwambaza; n'oteekweka baganda bo abeetaaga obuyambi bwo?





