Kubanga bw'atyo bw'ayogera oyo ali waggulu omugulumivu
atuula mu butaliggwaawo, erinnya lye Mutukuvu,
nti, “ Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu,
era wamu n'oyo alina omwoyo oguboneredde omukkakkamu,
okulamya omwoyo gw'abakkakkamu,
n'okulamya omutima gw'abo ababoneredde.
Kubanga siriwakana ennaku zonna,
so sirisunguwala emirembe gyonna:
kubanga omwoyo gwandiggweereddewo mu maaso gange,
n'emmeeme ze nnakola.