Isaaya 58:13-14
Isaaya 58:13-14 LBR
Bw'onookyusanga ekigere kyo okuva ku Ssabbiiti obutakolanga by'oyagala ggwe ku lunaku lwange olutukuvu; Ssabbiiti n'ogiyita essanyu, olunaku lwa Mukama olutukuvu olw'ekitiibwa; n'ogissangamu ekitiibwa, nga tokwata makubo go ggwe, so nga tonoonya by'oyagala ggwe, era nga toyogera bigambo byo ggwe: kale n'olyoka osanyukira Mukama; nange ndikwebagaza ku bifo ebigulumivu eby'ensi; era ndikuliisa obusika bwa Yakobo kitaawo, kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.





