Nze Mukama nakuyita mu butuukirivu,
ndikukwata ku mukono era nnaakukuumanga,
ne nkuwa okubanga endagaano y'abantu,
okubanga omusana eri ab'amawanga;
okuzibula amaaso g'abazibe b'amaaso,
okuggya abasibe mu bunnya,
n'abo abatuula mu kizikiza mu nnyumba ey'ekkomera.