1
Isaaya 41:10
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
totya, kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo, nnaakuwanga amaanyi; weewaawo, nnaakuyambanga; weewaawo, nnaakuwaniriranga n'omukono ogwa ddyo ogw'obutuukirivu bwange.
Compare
Explore Isaaya 41:10
2
Isaaya 41:13
Kubanga nze Mukama Katonda wo nnaakwatanga ku mukono gwo ogwa ddyo nga nkugamba nti, Totya; nze nnaakuyambanga.
Explore Isaaya 41:13
3
Isaaya 41:11
Laba, abo bonna abakusunguwalidde balikwatibwa ensonyi baliswazibwa; abo abawakana naawe baliba nga si kintu era balibula.
Explore Isaaya 41:11
4
Isaaya 41:9
gwe nnakwatako okuva ku nkomerero z'ensi ne nkuyita okukuggya mu nsonda zaayo, ne nkugamba nti, “ Ggwe muddu wange, nnakulonda so sikusuulanga
Explore Isaaya 41:9
5
Isaaya 41:12
Olibanoonya so tolibalaba abo abakuziyiza; abo abaakuwanyisanga baliggwaamu ensa.
Explore Isaaya 41:12
6
Isaaya 41:14
Totya, ggwe olusiriŋŋanyi Yakobo, nammwe abasajja ba Isiraeri; nze nnaakuyambanga, bw'ayogera Mukama, era Omutukuvu wa Isiraeri ye mununuzi wo.
Explore Isaaya 41:14
7
Isaaya 41:8
Naye ggwe, Isiraeri, omuddu wange, Yakobo gwe nnalonda, ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange
Explore Isaaya 41:8
8
Isaaya 41:18
Ndizibikula emigga ku busozi obutaliko kantu, n'ensulo wakati mu biwonvu; ndifuula olukoola ekidiba ky'amazzi, n'ettaka ekkalu okuba enzizi z'amazzi.
Explore Isaaya 41:18
9
Isaaya 41:17
Abaavu n'abatalina kintu banoonya amazzi so nga tewali, olulimi lwabwe ne lulakasira; nze Mukama ndibaddamu, nze Katonda wa Isiraeri siribaleka.
Explore Isaaya 41:17
10
Isaaya 41:4
Ani eyakireeta eyakikola, ng'ayita emirembe okuva ku lubereberye? Nze Mukama ow'olubereberye era ow'enkomerero, nze wuuyo.
Explore Isaaya 41:4
11
Isaaya 41:19-20
Ndisimba mu lukoola omuvule n'omusita n'omumwanyi n'omuzeyituuni; nditeeka mu ddungu enfugo n'omuyovu ne namukago wamu; balabe, bamanye, balowooze, bategeere wamu ng'omukono gwa Mukama gwe gukoze kino, era nga Omutukuvu wa Isiraeri ye akitonze.
Explore Isaaya 41:19-20