OKUBALA 28
28
Ebiweebwayo Ebyalagirwa
(Laba ne Kuv 29:38-46)
1Mukama n'agamba Musa 2alagire Abayisirayeli nti: “Ebiweebwayo eby'emmere eteekwa okutonerwa Mukama, nga bye biweebwayo ebyokebwa ebyakawoowo akamusanyusa, munassangayo omwoyo okubiwaayo gy'ali mu biseera byabyo ebyalagirwa.” 3Era abagambe nti: “Kino kye kiweebwayo ekyokebwa kye munaawangayo eri Mukama: endiga ento ennume bbiri ez'omwaka ogumu ogumu era ezitaliiko kamogo, zibenga ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku. 4Endiga ento emu, munaagitambiranga ku makya, endiga ento endala ne mugitambira akawungeezi, 5nga kugenderako ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekya kilo emu ey'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu lita emu ey'omuzigo ogw'emizayiti, omulungi. 6Kino kye kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, ekyasooka okuweerwayo ku Lusozi Sinaayi, nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekiwunyira Mukama akawoowo. 7Ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigendera ku buli ndiga ento emu, kinaabanga kya lita emu. Ekiweebwayo ekyo eky'ebyokunywa ekika, kye mutonera Mukama, munaakiyiwanga mu Kifo Ekitukuvu. 8Akawungeezi munaatambiranga endiga ento eyookubiri, nga bwe munaabanga mutambidde ey'oku makya, nga kuliko ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako, ne kiba ekiweebwayo ekyokebwa ekiwunyira Mukama akawoowo.
Ebiweebwayo eby'oku Sabbaato
9“Ku lunaku olwa Sabbaato, munaawangayo endiga ento ennume bbiri, ezitannaweza myaka ebiri, era ezitaliiko kamogo. Era munaawangayo kilo bbiri ez'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, era ne mwongerako n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako. 10Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli Sabbaato, ekyongerwa ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako.
11“Ekiweebwayo ku buli ntandikwa ya mwezi, munaawangayo eri Mukama ekitambiro ekyokebwa nga kiramba: ente envubuka bbiri, n'endiga enkulu ennume emu, endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, era ezitaliiko kamogo. 12Olw'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, munaawangayo obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti: kilo ssatu ez'obuwunga obwo olwa buli nte, kilo bbiri olwa buli ndiga enkulu ennume, 13ne kilo emu olwa buli ndiga ento ennume. Ekiweebwayo ekyo ekyokebwa nga kiramba, kye kiweebwayo ekyokebwa, ekiwunyira Mukama akawoowo. 14N'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, binaabanga lita bbiri ez'omwenge ogw'emizabbibu, olwa buli nte ennume, lita emu n'ekitundu, olwa buli ndiga nkulu ennume, ne lita emu, olwa buli ndiga ento. Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli mwezi, okumalako omwaka. 15Okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako, munaawangayo eri Mukama embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi.
Ekiweebwayo ku Mbaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa
(Laba ne Leev 23:5-14)
16“Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako eneekolerwanga Mukama, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogusooka mu mwaka.#Laba ne Kuv 12:1-13; Ma 16:1-2 17Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo, embaga emala ennaku omusanvu, era eriirwako emigaati egitazimbulukusiddwa eneetandikanga.#Laba ne Kuv 12:14-20; 23:15; 34:18; Ma 16:3-8 18Ku lunaku lw'embaga eyo olusooka, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu. 19Munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa, ne kyokebwa nga kiramba: ente envubuka bbiri, n'endiga enkulu ennume emu, n'endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, era ezitaliiko kamogo. 20Olw'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, munaawangayo olwa buli nte ennume, kilo ssatu ez'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti, ne kilo bbiri, olw'endiga enkulu ennume, 21ne kilo emu, olwa buli ndiga ento, ku ndiga ento omusanvu. 22Era munaawangayo embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi, okubasabira ekisonyiwo. 23Munaawangayo ebyo, okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, ekya buli nkya. 24Bwe mutyo bwe munaawangayo buli lunaku okumala ennaku omusanvu, ekiweebwayo ekyokebwa, ekiwunyira Mukama akawoowo. Munaakiwangayo okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako. 25Ku lunaku olw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu.
Ebiweebwayo ku Mbaga ey'Amakungula
(Laba ne Leev 23:15-22)
26“Ku lunaku olusooka olw'Embaga ey'Amakungula, era eyitibwa Embaga eya Wiiki Omusanvu, nga muwaayo eri Mukama eŋŋaano eyaakakungulwa, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu.#Laba ne Kuv 23:16; 34:22; Ma 16:9-12 27Naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekiwunyira Mukama akawoowo: ente envubuka bbiri, endiga enkulu ennume emu, n'endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu. 28Era olw'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, munaawangayo olwa buli nte ennume kilo ssatu ez'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi era obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti, ne kilo bbiri olw'endiga enkulu ennume emu, 29ne kilo emu olwa buli ndiga ento ennume, ku ndiga ento ennume omusanvu. 30Era munaawangayo embuzi ennume emu olw'okubasonyiyisa ebibi. 31Munaawangayo ebyo wamu n'ebiweebwayo byabyo eby'ebyokunywa ebigenderako, okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako. Era mwekkaanyenga nti bye muwaayo, tebiriiko kamogo.
Currently Selected:
OKUBALA 28: LB03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.