YouVersion Logo
Search Icon

OKUBALA 27

27
Bawala ba Zelofehaadi
1Ne weesowolayo abawala abayitibwa Maala, ne Noowa, Hogula, ne Milika, ne Tiruza, bawala ba Zelofehaadi mutabani wa Heferi, Heferi mutabani wa Gileyaadi, Gileyaadi mutabani wa Makiri, Makiri mutabani wa Manasse, Manasse mutabani wa Yosefu. 2Ne bajja mu maaso ga Musa ne Eleyazaari kabona, n'abakulembeze, n'ekibiina kyonna, ku mulyango gwa Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, ne bagamba nti: 3“Kitaffe yafiira mu ddungu nga tazadde baana ba bulenzi. Teyali mu kibiina ky'abo abeekuŋŋaanya ne beetaba ne Koora okuwakanya Mukama, wabula ye yafa lwa kibi kye kirala. 4Kaakano erinnya lya kitaffe lisangulwe mu lulyo lw'asibukamu, olw'okuba nga teyazaala mwana wa bulenzi? Tusaba mutuwe obutaka mu baganda ba kitaffe.”
5Musa n'ayanjula ensonga yaabwe eri Mukama. 6Mukama n'agamba Musa nti: 7“Bawala ba Zelofehaadi kye bagamba kituufu. Bawe obutaka obw'ensikirano mu baganda ba kitaabwe, basikire omugabo gwa kitaabwe.#Laba ne Kubal 36:2 8Era gamba Abayisirayeli nti: ‘Omusajja bw'anaafanga nga tazadde mwana wa bulenzi, muwala we anaasikiranga ebintu bye. 9Bw'anaabanga talina mwana wa buwala, munaawanga baganda be ebintu bye ne babisikira. 10Bw'anaabanga talina baganda be, kale ebintu bye munaabiwanga baganda ba kitaawe ne babisikira. 11Era bw'anaabanga talina na baganda ba kitaawe, olwo ebintu bye munaabiwanga oyo amulinako oluganda olusinga okuba olw'okumpi mu lulyo lwe, ne biba bibye. Lino linaabanga etteeka Abayisirayeli lye banaakuumanga, nga Nze Mukama bwe nkulagidde ggwe Musa.’ ”
Yoswa alondebwa okusikira Musa
(Laba ne Ma 31:1-8)
12Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Yambuka ku lusozi luno Abiriimu, olengere ensi gye mpadde Abayisirayeli.#Laba ne Ma 3:23-27; 32:48-52 13Bw'onoomala okugirengera, ojja kufa, weegatte ku bajjajjaabo nga muganda wo Arooni bwe yafa n'abeegattako, 14kubanga mmwe mwembi mwajeemera ekiragiro kyange mu Ddungu ly'e Ziini. Ekibiina kyonna bwe kyanjeemera e Meriba ku mazzi, mwagaana okumpeesa ekitiibwa mu maaso gaabwe.” Ago ge mazzi g'e Meriba, e Kadesi mu Ddungu ly'e Ziini.
15Musa n'asaba Mukama nti: 16“Mukama, Katonda, ensibuko y'obulamu, nkusaba olonde omuntu, akulire abantu bano, 17abakulemberenga, era abakumeekumenga, abantu bo bano baleme kuba nga ndiga ezitalina musumba.”#Laba ne 1 Bassek 22:17; Ezek 34:5; Mat 9:36; Mak 6:34
18Mukama n'agamba Musa nti: “Twala Yoswa, mutabani wa Nuuni, omusajja alimu Mwoyo, omusseeko emikono gyo.#Laba ne Kuv 24:13 19Omutwale ayimirire mu maaso ga Eleyazaari kabona, nga n'ekibiina ky'abantu kyonna weekiri, omukwase obukulu nga balaba. 20Omwawulize ku buyinza bwo, ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli kimuwulirenga. 21Anaagendanga eri Eleyazaari kabona, Eleyazaari n'akozesanga Wurimu n'amubuuliza kye njagala akole. Bw'atyo Eleyazaari ye anaawabulanga Yoswa, n'Abayisirayeli bonna mu byonna bye banaakolanga.”#Laba ne Kuv 28:30; 1 Sam 14:41; 28:6
22Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira. N'atwala Yoswa, Yoswa n'ayimirira mu maaso ga Eleyazaari kabona, nga n'ekibiina ky'abantu kyonna weekiri. 23Musa n'assa emikono gye ku Yoswa, n'amukwasa obukulu, nga Mukama bwe yamulagira.#Laba ne Ma 31:23

Currently Selected:

OKUBALA 27: LB03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for OKUBALA 27