YouVersion Logo
Search Icon

OKUBALA 29

29
Ebiweebwayo ku Mbaga ey'Olusooka Omwaka
(Laba ne Leev 23:23-25)
1“Ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'omusanvu,#29:1 Olunaku olusooka mu mwezi ogw'omusanvu: Lwe lunaku Olusooka Omwaka. munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu. Ku lunaku olwo, munaafuuwanga amakondeere. 2Munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, kiwunyire Mukama akawoowo: ente ennume envubuka emu, endiga enkulu ennume emu, n'endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo. 3Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, eky'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti: kilo ssatu olw'ente, kilo bbiri, olw'endiga enkulu ennume, 4ne kilo emu, olwa buli ndiga ento, ku ndiga ento ennume omusanvu. 5Era munaawangayo n'embuzi ennume emu ebe ekiweebwayo olw'ebibi, okubasabira ekisonyiwo. 6Ebyo munaabiwangayo, okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba eky'olunaku olusooka mu mwezi, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, era n'ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, okuli n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ebigenderako, nga bwe byalagirwa. Ebiweebwayo ebyo ebyokebwa biwunyira Mukama akawoowo.
Ekiweebwayo ku lunaku olutongole Olw'okusabirako Ekisonyiwo
(Laba ne Leev 23:26-32)
7“Ne ku lunaku olw'ekkumi, olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza, ne mwebonereza, era temuukolenga mulimu na gumu.#Laba ne Leev 16:29-34 8Munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, ekiwunya akawoowo: ente envubuka emu, endiga enkulu ennume emu, endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, era nga zonna teziriiko kamogo. 9Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, eky'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti: kilo ssatu olw'ente, kilo bbiri olw'endiga enkulu ennume, 10ne kilo emu olwa buli ndiga ento, ku ndiga ento ennume omusanvu. 11Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi, okwongereza ku kiweebwayo olw'ebibi olw'okusaba ekisonyiwo, n'ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako.”
Ebiweebwayo ku Lunaku Olukulu olw'Ensiisira
(Laba ne Leev 23:33-44)
12“Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu. Munaakolanga embaga okumala ennaku musanvu, okussaamu Mukama ekitiibwa.#Laba ne Leev 23:34; Ma 16:13-15 13Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ne mukyokya nga kiramba, kiwunyire Mukama akawoowo: ente envubuka kkumi na ssatu, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo. 14Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako, eky'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti: kilo ssatu, olwa buli nte, ku nte ekkumi n'essatu, ne kilo bbiri, olwa buli ndiga, ku ndiga zombi enkulu ennume, 15ne kilo emu, olwa buli ndiga, ku ndiga ento ekkumi n'ennya. 16Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ekyo munaakiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako.
17“Ku lunaku olwokubiri, munaawangayo ente envubuka kkumi na bbiri, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo. 18Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira. 19Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako.
20“Ku lunaku olwokusatu, munaawangayo ente kkumi n'emu, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo. 21Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira. 22Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako.
23“Ku lunaku olwokuna, munaawangayo ente kkumi, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya, nga zonna teziriiko kamogo. 24Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira. 25Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako.
26“Ku lunaku olwokutaano, munaawangayo ente mwenda, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya, nga zonna teziriiko kamogo. 27Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira. 28Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako.
29“Ku lunaku olw'omukaaga, munaawangayo ente munaana, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo. 30Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira. 31Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako.
32“Ku lunaku olw'omusanvu, munaawangayo ente musanvu, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo. 33Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira. 34Era munaawangayo n'embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako.
35“Ku lunaku olw'omunaana, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu. 36Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ne mukyokya nga kiramba, kiwunyire Mukama akawoowo: ente emu, endiga enkulu ennume emu, n'endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo. 37Munaawangayo n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, olw'ente, olw'endiga enkulu ennume, n'olw'endiga ento ennume, okusinziira ku muwendo gwazo nga bwe gunaabanga, era ne ku tteeka nga bwe liragira. 38Era munaawangayo n'embuzi emu ennume, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. Ebyo munaabiwangayo, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekyakwo, era n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako.
39“Ebyo bye munaawangayo eri Mukama ku mbaga zammwe ezaateekebwawo, bibe ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa, era ne bye muwaayo olw'okutabagana. Munaabiwangayo, nga mwongereza ku ebyo bye muwaayo okutuukiriza obweyamo bwammwe, ne ku ebyo bye muwaayo nga mweyagalidde.”
40Musa n'ategeeza Abayisirayeli byonna Mukama bye yamulagira.

Currently Selected:

OKUBALA 29: LB03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for OKUBALA 29