YouVersion Logo
Search Icon

OKUBALA 26

26
Okubala abantu okw'omulundi ogwokubiri
1Awo kawumpuli bwe yaggwa, Mukama n'agamba Musa ne Eleyazaari, mutabani wa Arooni kabona, nti:#Laba ne Kubal 1:1-46 2“Mubale Abayisirayeli bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, abayinza okugenda okutabaala. Mubabale nga mugoberera ennyumba za bajjajjaabwe.” 3Awo Musa ne Eleyazaari kabona, ne bategeeza abantu nga bali mu nsenyi z'e Mowaabu, ku Yorudaani okwolekera Yeriko, ne babagamba nti: 4“Mubale abantu abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, nga Mukama bwe yalagira Musa.”
Bano be Bayisirayeli abaava mu nsi y'e Misiri:
5Ekika kya Rewubeeni omwana omuggulanda wa Yisirayeli, kyalimu Amasiga: erya Hanoki n'erya Pallu, 6n'erya Hezirooni n'erya Karumi. 7Ago ge Masiga g'ab'Ekika kya Rewubeeni, era abaabalibwa ku bo, baali emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu asatu. 8Ab'olulyo lwa Pallu baali Eliyaabu 9ne batabani be, Semweli, ne Datani, ne Abiraamu. Datani ne Abiraamu abo be baalondebwa ekibiina ky'abantu, ne bawakanya Musa ne Arooni, era be beetaba ne Koora lwe baawakanya Mukama. 10Ettaka lyayasama ne libamira wamu ne Koora, bwe kityo ekibinja ekyo ne kifa, omuliro lwe gwazikiriza abasajja ebikumi ebibiri mu ataano, ne bafuuka akabonero akalabula abalala. 11Naye batabani ba Koora tebaafa.
12Ekika kya Simyoni kyalimu Amasiga: erya Nemweli, n'erya Yamini, n'erya Yakini; 13erya Zera, n'erya Sawuuli. 14Ago ge Masiga g'Ab'Ekika kya Simyoni. Gaalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu bibiri.
15Ekika kya Gaadi kyalimu Amasiga: erya Zefoni, n'erya Haggi, n'erya Suni; 16erya Ozini, n'erya Eri; 17erya Aroodi, n'erya Areli. 18Ago ge Masiga g'ab'Ekika kya Gaadi, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo ena mu bitaano.
19Batabani ba Yuda, Eri ne Onani, baafiira mu nsi ye Kanaani. 20Ekika kya Yuda kyalimu Amasiga: erya Seela, n'erya Pereezi, n'erya Zera. 21Essiga lya Pereezi lyalimu ennyiriri: olwa Hezirooni, n'olwa Hamuli. 22Ago ge Masiga g'ab'Ekika kya Yuda, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo musanvu mu kakaaga mu bitaano.
23Ekika kya Yissakaari kyalimu Amasiga: erya Toola, n'erya Puva; 24erya Yasuubu, n'erya Simurooni. 25Ago ge Masiga g'ab'Ekika kya Yissakaari, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya.
26Ekika kya Zebbulooni kyalimu Amasiga: erya Seredi, n'erya Eloni, n'erya Yaleeli. 27Ago ge Masiga g'ab'Ekika kya Zebbulooni, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo mukaaga mu bitaano.
28Yosefu yalina batabani be Manasse, ne Efurayimu.
29Mu Kika kya Manasse, Makiri mutabani wa Manasse oyo, ye kitaawe wa Gileyaadi, era gano ge Masiga g'abo abasibuka mu Gileyaadi: 30erya Yezeri, n'erya Heleki; 31erya Asiriyeeli n'erya Sekemu; 32erya Semida, n'erya Heferi. 33Zelofehaadi mutabani wa Heferi teyazaala baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala era amannya gaabwe ge gano: Maala ne Noowa, Hogula, Milika ne Tiruza. 34Ago ge Masiga ag'ab'Ekika kya Manasse, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu.
35Ekika kya Efurayimu kyalimu Amasiga: erya Sutela, n'erya Bekeri, n'erya Tahani. 36Ab'omu lulyo lwa Erani basibuka mu Sutela, ye jjajjaabwe. 37Ago ge Masiga ag'ab'Ekika kya Efurayimu, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bitaano.
Abo bonna basibuka mu Yosefu.
38Ekika kya Benyamiini kyalimu Amasiga: erya Bela, n'erya Asubeeli, n'erya Ahiraamu; 39erya Sefufaamu, n'erya Hufaamu. 40Ab'ennyiriri: olwa Arudi n'olwa Naamani basibuka mu Bela, ye jjajjaabwe. 41Ago ge Masiga ag'ab'Ekika kya Benyamiini, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga.
42Ekika kya Daani kyalimu abasibuka mu Suhaamu, 43era abaabalibwa ku Basuhamu abo baali abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bina.
44Ekika kya Aseri kyalimu Amasiga: erya Yimuna, n'erya Yisuvi, n'erya Beriya. 45Ab'olulyo olwa Heberi n'olwa Malukiyeeli basibuka mu Beriya, ye jjajjaabwe. 46Aseri yalina muwala we erinnya lye Seera. 47Ago ge Masiga ag'ab'Ekika kya Aseri, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina.
48Ekika kya Nafutaali kyalimu Amasiga: erya Yahuzeeli, n'erya Guuni; 49erya Yezeri, n'erya Sillemu. 50Ago ge Masiga ag'ab'Ekika kya Nafutaali, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu ebikumi bina.
51Abasajja bonna Abayisirayeli abaabalibwa, baali emitwalo nkaaga mu lukumi mu lusanvu mu asatu.
Okugabira Abayisirayeli ettaka
52Mukama n'agamba Musa nti:#Laba ne Kubal 34:13; Yos 14:1-2 53“Abo be baligabirwa ensi ebe obutaka bwabwe, okusinziira ku bungi bwabwe. 54Ekika ekirina abantu abangi, olikiwa ettaka ddene, n'ekika ekirina abantu abatono, olikiwa ettaka ttono. Buli kika kiriweebwa ettaka okuba obutaka bwakyo, okusinziira ku bungi bw'abantu baakyo abaabalibwa. 55Naye ettaka lirigabibwa nga likubirwa kalulu. Balirigabana nga bagoberera mannya ga bika bya bajjajjaabwe. 56Buli kika kiriweebwa ettaka lyakyo ery'ensikirano, nga likubirwa kalulu, era buli kika kirifuna ettaka, okusinziira ku bungi bw'abantu baakyo.”
Okubala Abaleevi
57Bano be Baleevi abaabalibwa okusinziira ku nsibuko zaabwe: abasibuka mu Gerusooni, n'abasibuka ku Kohati, era n'abasibuka mu Merari. 58Era mu Baleevi abo, mwe musibuka Abalibuni, Abaheburooni, Abamahuli, Abamuusi, n'Abakoora.
Kohati ye kitaawe wa Amuraamu. 59Muka Amuraamu yali ayitibwa Yokebedi muwala wa Leevi. Yokebedi oyo baamuzaala bali Misiri. Yokebedi ye yazaalira Amuraamu abaana Arooni ne Musa, ne Miriyamu mwannyinaabwe. 60Arooni ye kitaawe wa Nadabu ne Abihu, ne Eleyazaari ne Yitamaari.#Laba ne Kubal 3:2 61Kyokka Nadabu ne Abihu baafa, bwe baawaayo eri Mukama omuliro Mukama gw'atabalagidde.#Laba ne Leev 10:1-2; Kubal 3:4 62Abasajja Abaleevi bonna abaabalibwa, okuva ku mwana ow'obulenzi awezezza omwezi ogumu n'okusingawo, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu. Bo tebaabalibwa wamu n'Abayisirayeli bannaabwe, kubanga Abaleevi tebaaweebwa ttaka lya nsikirano nga Bayisirayeli balala.
63Abo be basajja Abayisirayeli abaabalibwa Musa ne Eleyazaari kabona, ku lubalama lw'Omugga Yorudaani, okwolekera Yeriko. 64Mu abo temwali n'omu ku bali abaabalibwa Musa ne Arooni kabona, lwe baabala Abayisirayeli mu Ddungu ly'e Sinaayi, 65kubanga Mukama yali agambye nti bonna baali ba kufiira mu ddungu. N'olwekyo, tewaali n'omu ku bo eyasigalawo, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefunne, ne Yoswa mutabani wa Nuuni.#Laba ne Kubal 14:26-35

Currently Selected:

OKUBALA 26: LB03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for OKUBALA 26