OKUBALA 25
25
Abayisirayeli nga bali e Pewori
1Abayisirayeli bwe baali e Sittimu, ne batandika okukola obwamalaaya n'abakazi Abamowaabu. 2Abakazi abo bwe baakolanga embaga nga batambirira balubaale baabwe, baayitanga Abayisirayeli. Abayisirayeli ne beetaba mu kulya, era ne bavuunamira balubaale abo, 3ne batabagana ne lubaale Baali ow'e Pewori. Mukama n'abasunguwalira. 4Mukama n'agamba Musa nti: “Twala abakulembeze bonna ab'Abayisirayeli obattire mu maaso gange emisana ttuku, ndyoke ndekere awo okusunguwalira abantu.”
5Musa n'agamba abakungu b'Abayisirayeli nti: “Buli omu ku mmwe atte basajja be abaasinzizza Baali ow'e Pewori.”
6Mu kaseera ako, omu ku Bayisirayeli n'aleeta mu weema ye omukazi Omumidiyaani, nga Musa n'Abayisirayeli bonna balaba, bwe baali nga bakungubagira ku mulyango gw'Eweema ey'Okusisinkanirangamu Mukama.
7Finehaasi mutabani wa Eleyazaari, era muzzukulu wa Arooni kabona, bwe yalaba ekyo, n'asituka n'ava mu kibiina ky'abantu, n'akwata effumu, 8n'agoberera omusajja oyo Omuyisirayeli n'omukazi oyo, mu weema. N'abafumita effumu, ne libayitamu bombi. Olwo kawumpuli eyali azikiriza Abayisirayeli, n'akomezebwa, 9ng'amaze okutta abantu emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
10Mukama n'agamba Musa nti: 11“Olw'ekyo Finehaasi mutabani wa Eleyazaari, era muzzukulu wa Arooni kabona, ky'akoze, ndekedde awo okusunguwalira Abayisirayeli. Yagaanye okubaako b'agumiikiriza mu bo, okusinza omulala yenna atali Nze, kyenvudde sibazikiriza mu busungu bwange. 12Kale, mugambe nti nkola naye endagaano ey'emirembe, era nti mmusiima, 13ye n'ezzadde lye eririmuddirira, babenga bakabona olubeerera, kubanga teyagumiikirizza banvuganya Nze Katonda we, bw'atyo n'afunira Abayisirayeli ekisonyiwo.”
14Omusajja Omuyisirayeli eyattirwa awamu n'omukazi Omumidiyaani yali Zimuri, mutabani wa Saalu, omukulu w'emu ku nnyumba ez'ab'Ekika kya Simyoni. 15Omukazi Omumidiyaani eyattibwa, yali Kozibi muwala wa Zuuri, eyali akulira abamu ku bakulu b'ennyumba mu Bamidiyaani.
16Mukama n'agamba Musa nti: 17“Lumba Abamidiyaani, obatte, 18kubanga balabe bammwe. Baabasalira enkwe, ne babasenderasendera e Pewori. Era balabe bammwe, olwa Kozibi muwala w'omufuzi Omumidiyaani. Kozibi oyo, mwannyinaabwe, ye yattibwa mu kiseera kya kawumpuli, olw'ebyo ebyagwawo e Pewori.”
Currently Selected:
OKUBALA 25: LB03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.