OKUBALA 24
24
1Balamu bwe yamanya nga Mukama ayagala okuwa Abayisirayeli omukisa, n'atagenda kumala kwebuuza nga bwe yakola mu kusooka, wabula n'ayolekeza amaaso ge eri eddungu. 2Bwe yayimusa amaaso, n'alaba Abayisirayeli nga basiisidde ng'ebika byabwe bwe biddiriŋŋana. Mwoyo wa Mukama n'ajja ku ye.
3N'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti:
“Bino bye bigambo bya Balamu
mutabani wa Beyori,
era bye bigambo by'omusajja
alaba obulungi.
4Bino bye bigambo by'oyo
awulira Katonda by'agamba,
eby'oyo eyeebaka,
kyokka n'asigala ng'atunula,
n'alaba ebimulagibwa Omuyinzawaabyonna.
5Eweema zammwe aba Yakobo,
n'ensiisira zammwe Abayisirayeli,
nga nnungi!
6Zeeyaliiridde ng'ebiwonvu,
ng'ennimiro ku lubalama lw'omugga;
ng'emiti gy'omugavu,
Mukama gye yasimba.
Ziri ng'emiti emyerezi,
egiri okumpi n'amazzi.
7Banaafunanga enkuba nnyingi,
ne basiga ensigo zaabwe
mu nnimiro efukirirwa obulungi.
Kabaka waabwe anaasinganga
Kabaka Agagi ekitiibwa,
n'obwakabaka bwe
bunaatenderezebwanga.
8Ng'embogo bwe yeesiga
amayembe gaayo,
nabo bwe beesiga Katonda
abaggye mu Misiri.
Balisaanyaawo amawanga
g'abalabe baabwe,
bamenyeemenye amagumba gaabwe,
babafumise obusaale bwabwe.
9Abayisirayeli babwama ne beebaka
ng'empologoma ey'amaanyi.
Ani aguma okubazuukusa?
Buli abasabira omukisa,
naye aguweebwenga.
Buli abakolimira,
naye akolimirwenga.”#Laba ne Nta 12:3; 49:9
10Awo Balaki n'asunguwalira Balamu, ne yeecwacwana, n'agamba Balamu nti: “Nakuyita kukolimira balabe bange, ate ggwe kaakano obasabidde mukisa emirundi gino gyonsatule. 11Kale kaakano ddayo ewammwe. Nali nsuubizza okukukuza obe waakitiibwa nnyo, naye Mukama akuziyizizza okukuzibwa.”
12Balamu n'agamba Balaki nti: “Ababaka be wantumira ssaabagamba nti: 13‘Balaki ne bw'ampa olubiri lwe nga lujjudde ebyobugagga ebingi, siyinza kuva ku kigambo kya Mukama, ne nkola ekyange ku bwange, ka kibe kirungi oba ekibi,’ era nti ‘Nja kwogera ekyo kyokka Mukama ky'anaagamba?’ 14Kaakano nzirayo mu bantu bange, naye nga sinnagenda, jjangu nkutegeeze abantu bano bye balikola ku bantu bo mu biseera ebijja.”
Okulagula kwa Balamu okusembayo
15Awo Balamu n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti:
“Bino bye bigambo bya Balamu
mutabani wa Beyori,
era bye bigambo by'omusajja
alaba obulungi.
16Bino bye bigambo by'oyo
awulira Katonda by'agamba,
amanya amagezi g'Atenkanika,
era eby'oyo eyeebaka,
kyokka n'asigala ng'atunula,
n'alaba ebimulagibwa
Omuyinzawaabyonna.
17“Bwe ntunula, mbalaba,
naye si nga bwe bali kati.
Mbatunuulira naye nga
bandi wala.
Kabaka ali ng'emmunyeenye alisibuka
mu ba Yakobo bano
Ye, ggwe muggo ogw'obwakabaka,
ogulisibuka mu Bayisirayeli.
Alikuba abakulembeze ba Mowaabu,
alisaanyaawo aba Seeti bonna.
18“Aliwangula abalabe be mu Edomu,
ne yeefuga ensi yaabwe Seyiri,
nga yo Yisirayeli yeeyongera kuba ya maanyi.
19Oyo asibuka mu ba Yakobo alifuga,
era alisaanyaawo
abaliba basigaddewo
mu kibuga.”
20Awo Balamu bwe yatunuulira Abamaleki, n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti:
“Ery'Abamaleki lye lyali
ebbereberye mu mawanga,
naye ku nkomerero,
lya kuzikirira.”
21Bwe yatunuulira Abakeeni, n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti:
“Ekifo kye mubeeramu kigumu
Kiri ng'ekisu ekyesiifu
ekyawanikibwa eyo mu lwazi.
22“Naye Abakeeni mulizikirizibwa,
Abassiriya bwe balibatwala
nga muli basibe.”
23Balamu era n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti:
“Zitusanze!
Katonda bw'alikola ekyo,
ani alisigalawo nga mulamu?
24Kale abalumbaganyi
baliva e Kittimu mu mmeeri,
ne bawangula Assiriya ne Eberi,
naye nabo balizikirizibwa.”
25Awo Balamu n'asitula n'addayo ewaabwe, ne Balaki n'akwata amakubo ge.
Currently Selected:
OKUBALA 24: LB03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.