OKUBALA 23
23
Okulagula kwa Balamu okwasooka
1Balamu n'agamba Balaki nti: “Nzimbira wano alutaari musanvu, era ondeetere wano ente ennume musanvu, n'endiga ennume musanvu.”
2Balaki n'akola nga Balamu bwe yamugamba. Balaki ne Balamu ne batambira#23:2 ne batambira: Bwe kityo bwe kiri mu Bayibuli ey'Olwebureeyi. Naye mu y'Oluyonaani, Balaki yekka ye yatambira. ente ennume emu, n'endiga ennume emu ku buli alutaari. 3Balamu n'alyoka agamba Balaki nti: “Yimirira okumpi n'ekiweebwayo kyo ekyokebwa, nze ŋŋende ndabe oba nga Mukama anajja okunsisinkana. Era buli ky'anandaga, nnaakikutegeeza.” N'ayambuka yekka ku ntikko y'akasozi, awataali bimera. 4Katonda n'amusisinkana. Balamu n'agamba Katonda nti: “Ntegese alutaari musanvu, era ku buli emu, ne ntambirirako ente ennume emu n'endiga ennume emu.”
5Mukama n'amanyisa Balamu by'anaayogera. N'amugamba nti: “Ddayo eri Balaki era oyogere bw'otyo.” 6Bw'atyo Balamu n'addayo, n'asanga Balaki ng'ayimiridde okumpi n'ekitambiro ky'awaddeyo ekyokebwa, ng'ali wamu n'abakungu ba Mowaabu bonna. 7Balamu n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti:
“Balaki Kabaka wa Mowaabu,
yanzigya mu Aramu,
mu nsozi z'ebuvanjuba,
n'aŋŋamba nti: ‘Jjangu onkolimirire aba Yakobo,
jjangu ovumirire Abayisirayeli.’
8Nnaakolimira ntya oyo,
Katonda gw'atakolimidde?
Nnaavumirira ntya oyo,
Katonda gw'atavumiridde?
9Mbalabira we ndi
ku ntikko z'enjazi,
Mbalengerera ku lusozi.
Abantu abo lye ggwanga
eribeera lyokka,
eriteebalira mu mawanga.
10“Abazzukulu ba Yakobo,
bangi nnyo ng'enfuufu.
Ayinza okubabala ye ani?
Nga kizibu n'okubalako
wadde ekyokuna ekimu
eky'Abayisirayeli abo!
Singa nnyini obulamu bwange buggwaako
nga ndi muntu wa Ddunda!
Singa n'enkomerero yange
eba ng'ey'omutuukirivu!”
11Balaki n'agamba Balamu nti: “Biki bino by'onkoledde? Nakuleese okolimire abalabe bange, naye ate ggwe ky'okoze, obasabidde mukisa?”
12Ye n'addamu nti: “Nandiremye okwogera ekyo kyokka Mukama ky'ampadde okwogera?”
Okulagula kwa Balamu okwokubiri
13Awo Balaki n'agamba Balamu nti: “Nkwegayiridde jjangu tugende ffembi mu kifo ekirala, w'onooyinza okubalengerera. Onoolabako bamu, sso si bonna, osinziire eyo okubankolimirira.” 14N'amutwala mu ttale ly'e Zofiimu, ku ntikko y'Olusozi Pisuga. N'azimbayo alutaari musanvu, n'atambirira ku buli alutaari ente ennume emu, n'endiga ennume emu.
15Balamu n'agamba Balaki nti: “Sigala wano okumpi n'ekiweebwayo kyo ekyokebwa, nze ŋŋende eri nsisinkane Mukama.”
16Mukama n'amanyisa Balamu by'anaayogera. N'amugamba nti: “Ddayo eri Balaki era oyogere bw'otyo.” 17N'addayo, n'asanga Balaki ng'akyayimiridde okumpi n'ekiweebwayo kye ekyokebwa, nga n'abakungu ba Mowaabu bali wamu naye. Balaki n'abuuza Balamu nti: “Mukama agambye ki?” 18Balamu n'ayogera ebigambo bye eby'obulanzi nti:
“Balaki, jjangu owulire,
Ntegera okutu ggwe
mutabani wa Zippori.
19“Katonda talimba,
naye abantu balimba.
Katonda takyuka,
naye abantu bakyuka.
Ye ky'asuubiza akikola,
ky'ayogera akituukiriza.
20“Katonda andagidde okuwa omukisa.
N'olwekyo Katonda bw'awa omukisa,
siyinza kugujjulula.
21Talabye kibi ku ba Yakobo,
wadde ekikyamu ku Bayisirayeli.
Mukama Katonda waabwe
ali nabo.
Baatula bw'ali Kabaka waabwe.
22Ng'embogo bwe yeesiga
amayembe gaayo,
nabo bwe beesiga Katonda
abaggye e Misiri.
23Tekisoboka okuloga aba Yakobo,
wadde okulagula eby'okukola akabi
ku Bayisirayeli.
Banaayogerwangako nti:
‘Katonda ng'abakoledde!’
24Yisirayeli lye ggwanga eritaamuuka
ng'empologoma enkazi,
oba ensajja etebwama kukkalira,
okutuusa lw'etuga ky'eyigga,
n'enywa omusaayi gw'ekyo ekittiddwa.”
25Awo Balaki n'agamba Balamu nti: “Nga bw'ogaanye okubakolimira, era lema nno n'okubawa omukisa.”
26Naye Balamu n'addamu Balaki nti: “Saakugambye nti nteekwa okukola byonna Mukama by'anaagamba?”
Balamu alagula omulundi ogwokusatu
27Balaki n'agamba Balamu nti: “Kale jjangu nkwegayiridde, nkutwale mu kifo ekirala, oboolyawo Mukama anaasiima osinziire eyo okubankolimirira.” 28Awo Balaki n'alinnyisa Balamu ku Lusozi Pewori, awalengererwa eddungu. 29Balamu n'agamba Balaki nti: “Nzimbira wano alutaari musanvu, era ondeetere wano ente ennume musanvu, n'endiga ennume musanvu.” 30Balaki n'akola nga Balamu bwe yagamba, n'atambira ku buli alutaari ente ennume emu, n'endiga ennume emu.
Currently Selected:
OKUBALA 23: LB03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.