1
OKUBALA 21:8
Luganda Bible 2003
LB03
Mukama n'agamba Musa nti: “Kola omusota ogufaanana egyo egy'obusagwa, oguwanike ku mulongooti. Buli anaaba alumiddwa omusota, bw'anaatunula ku ogwo, anaawona.”
Compare
Explore OKUBALA 21:8
2
OKUBALA 21:9
Musa n'aweesa omusota ogw'ekikomo, n'aguwanika ku mulongooti. Awo buli eyabanga alumiddwa omusota, bwe yatunuuliranga omusota ogwo ogw'ekikomo, ng'awona.
Explore OKUBALA 21:9
3
OKUBALA 21:5
ne boogera bubi ku Katonda ne ku Musa nti: “Lwaki mwatuggya e Misiri? Mwatuleeta tufiire mu ddungu? Tewali mmere, tewali mazzi. N'okwetamwa twetamiddwa ekyokulya kino ekitalina bwe kiri.”
Explore OKUBALA 21:5
4
OKUBALA 21:6
Awo Mukama n'asindika emisota egy'obusagwa, era bangi ku Bayisirayeli ne bafa.
Explore OKUBALA 21:6
5
OKUBALA 21:7
Abantu ne bajja eri Musa, ne bagamba nti: “Twakola kibi bwe twayogera obubi ku Katonda ne ku ggwe. Weegayirire Mukama atuggyeko emisota.” Musa n'asabira abantu.
Explore OKUBALA 21:7