OKUBALA 14
14
Abayisirayeli beemulugunya ne bajeema
1Abakessi ekkumi n'ababiri abaaketta ensi y'e Kanaani bwe baamala okuwa obubaka bwabwe, ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kireekaana, abantu ne bakaaba amaziga ekiro ekyo kyonna. 2Ne beemulugunyiza Musa ne Arooni, ekibiina kyonna ne kigamba nti: “Singa nno twafiira mu nsi y'e Misiri, oba waakiri mu ddungu muno! 3Lwaki Mukama atuleeta mu nsi eno? Tujja kuttirwa mu lutalo, bakazi baffe n'abaana baffe abato banyagibwe. Tekyanditusingiddeko obulungi okuddayo e Misiri?” 4Ne bagambagana nti: “Tulonde omukulembeze, tuddeyo e Misiri.”
5Awo Musa ne Arooni ne bavuunamira ddala ku ttaka, mu maaso g'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli. 6Yoswa mutabani wa Nuuni, ne Kalebu mutabani wa Yefunne, abaali mu abo abaaketta ensi eyo, ne bayuza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala, ne beecwacwana, 7ne bategeeza ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli nti: “Ensi gye twayitamu ne tugiketta, nsi mpitirivu obulungi. 8Oba nga Mukama atusiima, ajja kutuyingiza mu nsi eyo engimu era engagga, agituwe. 9Ekikulu, muleme kujeemera Mukama, wadde okutya abantu abali mu nsi eyo, kubanga kijja kutwanguyira okubawangula, nga bwe twanguyirwa okulya emmere. Bo ekibadde kibakuuma, kimaze okubaggyibwako, naye ffe Mukama ali wamu naffe. N'olwekyo temubatya.”#Laba ne Beb 3:16 10Ekibiina kyonna ne kigamba okubakuba amayinja. Naye mu kaseera ako, ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira Abayisirayeli bonna ku Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama.
11Mukama n'agamba Musa nti: “Abantu bano balituusa wa okunnyooma? Era balituusa wa obutanneesiga, wadde nga nkoze ebyewuunyo ebyo byonna mu bo? 12Nja kubasindikamu kawumpuli mbazikirize, nsibuse mu ggwe eggwanga eddene era ery'amaanyi okusinga bo bwe bali.”
Musa yeegayiririra Abayisirayeli
13Naye Musa n'agamba Mukama nti: “Ggwe waggya abantu bano e Misiri, ng'okozesa obuyinza bwo. Abamisiri bwe baliwulira ky'okoze abantu bo,#Laba ne Kuv 32:11-14 14balikibuulira abantu ababeera mu nsi eno. Sso nga bano baamala dda okuwulira nga Ggwe, ayi Mukama, oli wamu n'abantu bano, era nti obalabikira mu lwatu, ekire kyo bwe kiyimirira waggulu ku bo, era ng'obakulembera mu mpagi ey'ekire emisana, ne mu mpagi ey'omuliro ekiro. 15Kale bw'onotta abantu bo bano bonna n'obamalawo, ab'amawanga amalala abaawulira ettutumu lyo, baligamba nti: 16‘Mukama yalemwa okutuusa abantu bano mu nsi gye yabalayirira okubawa, kyeyava abattira mu ddungu.’ 17Kale kaakano nkwegayiridde, ayi Mukama, laga obuyinza bwo obungi, okole kye wasuubiza bwe wagamba nti: 18‘Nze Mukama, ndwawo okusunguwala, nnina okwagala kungi, nsonyiwa ebibi n'obujeemu, naye sirema kubonereza muntu olw'omusango gw'azzizza. Era mbonereza abaana n'abazzukulu, okutuusa ku zzadde eryokusatu n'eryokuna olw'ebibi by'abazadde baabwe.’#Laba ne Kuv 20:5-6; 34:6-7; Ma 5:9-10; 7:9-10 19Nkwegayiridde sonyiwa ebibi by'abantu bano olw'okusaasira kwo okungi, era nga bw'obadde obasonyiwa okuva lwe baava mu Misiri n'okutuusa kaakano.”
20Mukama n'addamu nti: “Mbasonyiye, nga bw'onsabye. 21Naye mazima ddala, Nze Mukama ndayira nti nga bwe ndi omulamu, era ng'ensi yonna bw'ejjula ekitiibwa kyange,#Laba ne Beb 3:18 22kale ku bantu abo abaalaba ekitiibwa kyange n'ebyewuunyo bye nakolera mu Misiri ne mu ddungu, naye ne bantawaanya emirundi n'emirundi, era ne banjeemera, 23mazima tewaliba n'omu ku bo, abo abannyooma, aliraba nsi gye nalayirira bajjajjaabwe. 24Kyokka omuweereza wange Kalebu, kubanga ye endowooza ye ya njawulo, era annywereddeko n'omutima gwe gwonna, ndimutuusa mu nsi gye yalambula, era ezzadde lye lirigiweebwa.#Laba ne Yos 14:9-12 25Abamaleki n'Abakanaani nga bwe bali mu kiwonvu, enkya mukyuke mutambule mu ddungu, mu kkubo eridda ku Nnyanja Emmyufu.”
Mukama abonereza Abayisirayeli
26Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: 27“Ekibiina kino eky'abantu ababi kirituusa wa okunneemulugunyiza? Nkooye okuwulira okwemulugunya kw'Abayisirayeli kwe banneemulugunyiza. 28Mubagambe nti: ‘Nze Mukama ndayira nti nga bwe Ndi omulamu, nja kubakolako nga bwe mpulidde ebyo mmwe mwennyini bye mwogedde. 29Mujja kufa, emirambo gyammwe gigwe mu ddungu muno. Abo bonna mu mmwe, abaabalibwa nga bawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, abanneemulugunyizza,#Laba ne Beb 3:17 30mazima tebalituuka mu nsi gye nneerayirira okubawa okubeerangamu, wabula Kalebu mutabani wa Yefunne, ne Yoswa mutabani wa Nuuni, be bokka abaligituukamu. 31Naye abaana bammwe abato be mugambye nti bajja kunyagibwa, be ndiyingiza mu nsi eyo mmwe gye munyoomye, era be baligyeyagaliramu. 32Naye mmwe, emirambo gyammwe gya kugwa mu ddungu lino. 33Abaana bammwe balibungeetera mu ddungu emyaka amakumi ana, nga babonaabona olw'obutali bwesigwa bwammwe, okutuusa lwe mulifiira mu ddungu ne muggwaawo.#Laba ne Bik 7:36 34Mulibonaabona okumala emyaka amakumi ana olw'ebibi byammwe. Buli lunaku ku nnaku amakumi ana ze mwamala nga muketta ensi eyo, mulirusasulamu omwaka mulamba, mulyoke mutegeere nga nabaabulira. 35Nze Mukama njogedde. Mazima ekyo nja kukikola ku b'Eggwanga lino lyonna ebbi, abakuŋŋaanye okumpakanya. Mu ddungu lino tebalivaamu. Bonna mwe balifiira.’ ”
36Abantu Musa be yatuma okuketta ensi eyo abaakomawo ne bagyogerako ebigambo ebibi eby'obulimba ebyaleetera ekibiina kyonna okwemulugunyiza Mukama, 37abantu abo abaayogera ebigambo ebibi eby'obulimba ku nsi eyo, ne bafa kawumpuli mu maaso ga Mukama. 38Naye Yoswa mutabani wa Nuuni, ne Kalebu mutabani wa Yefunne, be baasigalawo nga balamu ku bantu abo abaagenda okuketta ensi eyo.
Okulumba Ensi Kanaani omulungi ogwasooka
(Laba ne Ma 1:41-46)
39Awo Musa n'abuulira Abayisirayeli bonna ebyo Mukama by'agambye. Abantu ne banyolwa nnyo. 40Enkeera, ne bazuukuka ku makya, ne bagenda okulumba ensi ey'ensozi, nga bagamba nti: “Laba tuutuno twetegese okwambuka okugenda mu kifo Mukama kye yasuubiza. Tutegedde nga twakoze kibi.” 41Musa n'agamba nti: “Lwaki kaakano mujeemera ekiragiro kya Mukama? Temujja kuwangula. 42Temugenda, kubanga Mukama tali wamu nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula mmwe. 43Bwe munaasisinkanirayo n'Abamaleki era n'Abakanaani, mujja kuttirwa mu lutalo. Mukama tajja kuba wamu nammwe, kubanga mwamweggyako, ne mugaana okumugoberera.”
44Naye bo ne beerema, ne bambuka mu nsi ey'ensozi, newaakubadde ng'Essanduuko y'Endagaano ya Mukama, wadde Musa, teyava mu lusiisira. 45Awo Abamaleki n'Abakanaani abatuuze b'omu nsi eyo ey'ensozi, ne bakkirira, ne bakuba nnyo Abayisirayeli, ne babawondera okutuusa e Horuma.
Currently Selected:
OKUBALA 14: LB03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.