YouVersion Logo
Search Icon

OKUBALA 13

13
Abakessi batumibwa mu nsi y'e Kanaani
(Laba ne Ma 1:19-33)
1Awo Mukama n'agamba Musa nti: 2“Tuma abantu bagende bakette ensi y'e Kanaani gye mpa Abayisirayeli. Munaatuma omuntu omu okuva mu buli kika, era omuntu oyo nga mukulembeze mu kika kye.”
3Nga bali mu ddungu ly'e Parani, Musa n'akola nga Mukama bwe yalagira. N'atuma abasajja nga bonna bakulembeze ba bika by'Abayisirayeli. 4Amannya g'abaatumibwa ge gano: ow'omu Kika kya Rewubeeni, Sammuwa mutabani wa Zakkuri; 5ow'omu Kika kya Simyoni, Safaati mutabani wa Hoori; 6ow'omu Kika kya Yuda, Kalebu mutabani wa Yefunne; 7ow'omu Kika kya Yissakaari, Yigali mutabani wa Yosefu; 8ow'omu Kika kya Efurayimu, Hoseya mutabani wa Nuuni; 9ow'omu Kika kya Benyamiini, Paluti mutabani wa Raama; 10ow'omu Kika kya Zebbulooni, Gadiyeeli mutabani wa Soodi; 11ow'omu Kika kya Yosefu, kye Kika kya Manasse, Gaddi mutabani wa Suusi; 12ow'omu Kika kya Daani, Ammiyeeli mutabani wa Gemalli; 13ow'omu Kika kya Aseri, Seturi mutabani wa Mikayeli; 14ow'omu Kika kya Nafutaali, Nahubi mutabani wa Vofusi; 15ow'omu Kika kya Gaadi, Geweli mutabani wa Maaki.
16Ago ge mannya g'abantu Musa be yatuma okuketta ensi eyo. Musa n'atuuma Hoseya, mutabani wa Nuuni, erinnya Yoswa.
17Musa n'abatuma okuketta ensi ye Kanaani. N'abagamba nti: “Mwambuke, muyite mu nsi enkalu, mweyongereyo mu nsozi. 18Mulabe ensi eyo nga bw'eri, n'abantu abagirimu oba nga bangi, oba nga batono, oba nga ba maanyi, oba nga banafu. 19Mulabe oba ng'ensi eyo gye balimu nnungi oba nga mbi. Mwetegereze oba nga babeera mu nsiisira, oba mu bibuga ebiriko ebigo ebigumu. 20Mwekkaanye oba nga ensi eyo ngimu oba nkalu, oba nga mulimu emiti, oba nga temuli. Era mufube okuleeta ku bibala byamu.” Ekiseera ekyo kyali kya mizabbibu we gisookera okwengera.
21Ne bambuka ne baketta ensi eyo, okuva ku ddungu ly'e Ziini okutuuka e Rehobu awayingirirwa e Hamati. 22Ne bambuka ne bayita mu nsi enkalu, ne batuuka mu Heburooni. Eyo nno Abahimani, n'Abasesayi, n'Abatalumayi, bazzukulu ba Anaki#13:22 Anaki: Abaanaki be bantu abanene, abawagguufu, era abatiisa ennyo. gye baali. (Heburooni kyali kimaze emyaka musanvu nga kizimbiddwa, ne Zowani eky'e Misiri nakyo ne kiryoka kizimbibwa). 23Ne batuuka mu Kiwonvu ky'Ekirimba#13:23,24 Ekirimba: Mu Lwebureeyi “Eshcol.”, ne batemayo ettabi eryaliko ekirimba kimu eky'emizabbibu, abantu babiri balamba ne bakireeta nga bakisitulidde ku muti. Ne baleeta ne ku makomamawanga ne ku bibala by'emitiini. 24Ekifo ekyo ne bakituuma erinnya “Ekiwonvu ky'Ekirimba,” olw'ekirimba Abayisirayeli kye baatemayo.
Abakessi banjula bye baalaba
25Abakessi ne bakomawo nga wayiseewo ennaku amakumi ana, ze baamala nga baketta ensi eyo. 26Ne bajja eri Musa ne Arooni n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli e Kadesi mu ddungu ly'e Parani, ne babategeeza bye baalaba, ne babalaga ebibala bye baaleta. 27Ne battottolera Musa nti: “Twatuuka mu nsi gye watutumamu. Mazima nsi ngimu era ngagga, era bino bye bibala byamu. 28Naye abantu ababeera mu nsi eyo ba maanyi, n'ebibuga byabwe binene nnyo era biriko ebigo ebigumu. N'ekirala, twalabayo bazzukulu ba Anaki. 29Abamaleki be bali mu kitundu ekikalu eky'ensi eyo, Abahiiti n'Abayebusi n'Abaamori, be bali ku nsozi, ate Abakanaani be bali okumpi n'ennyanja, ne ku lubalama lw'Omugga Yorudaani.”
30Kalebu n'asirisa abantu abaali bakuŋŋaanidde awali Musa, n'agamba nti: “Twambuke awatali kulwa tuwambe ensi eyo, kubanga tusobolera ddala okugiwangula.”
31Kyokka abantu abaagendayo naye ne bagamba nti: “Tetuyinza kwaŋŋanga kulwanyisa bantu bali, kubanga batusinga nnyo amaanyi.” 32Ne basaasaanya mu Bayisirayeli ebigambo ebibi eby'obulimba ebifa ku nsi gye baali bakesse, ne bagamba nti: “Ensi gye twayitamu nga tugiketta, nsi nkalu, etebaza mmere emala okusobola okubeezaawo abantu abagibeeramu, n'abantu bonna be twalabayo, bantu bawanvu nnyo. 33Era twalabayo abantu abawagguufu, Abaanaki abasibuka mu Banefiri. Tweraba nga tuli basirikitu nga nseenene, era nabo bwe batyo bwe baatulaba.”#Laba ne Nta 6:4

Currently Selected:

OKUBALA 13: LB03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for OKUBALA 13