Naye mazima ddala, Nze Mukama ndayira nti nga bwe ndi omulamu, era ng'ensi yonna bw'ejjula ekitiibwa kyange, kale ku bantu abo abaalaba ekitiibwa kyange n'ebyewuunyo bye nakolera mu Misiri ne mu ddungu, naye ne bantawaanya emirundi n'emirundi, era ne banjeemera, mazima tewaliba n'omu ku bo, abo abannyooma, aliraba nsi gye nalayirira bajjajjaabwe.