YouVersion Logo
Search Icon

OKUBALA 12

12
Miriyamu abonerezebwa olw'okwogera obubi ku Musa
1Musa yawasa omukazi Mukuusi.#12:1 Omukuusi: Kuusi ze nsi kati eziyitibwa Etiyopiya ne Sudaani. Miriyamu ne Arooni ne boogera bubi ku Musa, nga bamulanga omukazi oyo. 2Ne bagamba nti: “Mukama ayogera ng'ayita mu Musa yekka? Teyayogera ng'ayita ne mu ffe?” Mukama n'awulira kye boogedde. 3Omusajja Musa yali mwetoowaze nnyo okusinga abantu abalala bonna ku nsi.
4Amangwago Mukama n'ayogera ne Musa ne Arooni ne Miriyamu nti: “Mwensatule mugende ku Weema ey'Okunsisinkanirangamu.” Bonsatule ne bagenda. 5Mukama n'akkira mu mpagi ey'ekire, n'ayimirira ku mulyango gw'Eweema, n'ayita Arooni ne Miriyamu. Bombi ne bagenda. 6Mukama n'agamba nti: “Muwulire kye ŋŋamba. Bwe wabaawo omulanzi mu mmwe, Nze Mukama mmweyolekera mu kulabikirwa, era njogera naye mu birooto. 7Naye ku muweereza wange Musa, si bwe kiri. Sirina kye mmukisa, kubanga mwesigwa.#Laba ne Beb 3:2 8Ye njogera naye nga tutunuuliganye maaso na maaso, era butereevu sso si mu ngero. Era ye yali alabye ne bwe nfaanana. Kale muyinza mutya obutatya kwogera bubi ku muweereza wange oyo Musa?”
9Awo Mukama n'abasunguwalira, era n'avaawo. 10Ekire ne kiva ku Weema. Okutemya n'okuzibula, Miriyamu n'alwalirawo endwadde y'olususu etiisa, n'ayeruka ng'omuzira. Arooni bwe yakyuka n'atunula ku Miriyamu, n'alaba nga Miriyamu akwatiddwa endwadde y'olususu etiisa. 11N'agamba Musa nti: “Ayi mukama wange, nkwegayiridde, ekibi ekyo kitusonyiwe. Bye tukoze bya busirusiru, era gutusinze. 12Nkwegayiridde, ono tomuleka kuba nga muntu azaalibwa ng'afudde, n'omubiri gwe nga guvunzeeko ekitundu.”
13Musa n'akaabirira Mukama nti: “Ayi Katonda, nkwegayiridde, muwonye!”
14Mukama n'agamba Musa nti: “Singa kitaawe ye abadde amuwandidde amalusu mu maaso, teyandibadde n'obuswavu okumala ennaku musanvu? Kale aggalirwe ebweru w'olusiisira okumala ennaku musanvu, n'oluvannyuma balyoke bamukomyewo ayingire.”#Laba ne Kubal 5:2-3 15Bw'atyo Miriyamu n'aggalirwa ebweru w'olusiisira okumala ennaku musanvu. Abantu ne batatambula okutuusa lwe baamukomyawo n'ayingira. 16Olwo ne bava e Hazerooti, ne batambula, ne basiisira mu Ddungu ly'e Parani.

Currently Selected:

OKUBALA 12: LB03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in