OKUBALA 11
11
Abantu beemulugunya
1Awo abantu ne batandika okwemulugunyiza Mukama olw'ebizibu ebyabatuukako. Mukama bwe yawulira, n'asunguwala. Omuliro gwe ne gwaka mu bo, ne gwokya ekitundu ekikomererayo mu lusiisira. 2Abantu ne bakaabirira Musa abayambe. Musa ne yeegayirira Mukama, omuliro ne gukkakkana. 3Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya “Okwaka”,#11:3 Okwaka: Mu Lwebureeyi “Taberah.” kubanga omuliro gwa Mukama gwayaka mu bo.
4Awo ab'omu kibinja ky'abagwira abaali batambula n'Abayisirayeli, ne booya nnyo okulya ennyama. Abayisirayeli nabo ne beemulugunya nga bagamba nti: “Ani anaatuwa ennyama tulye? 5Kale mazima tujjukira ebyennyanja bye twalyanga eby'obwereere e Misiri, ssaako wujju n'ensujju, n'obutungulu, ne katunguluccumu. 6Naye kaakano amaanyi gonna gatuweddemu. Tetukyalina kyakulya kye tulabako, wabula mannu eno yokka!”
7Mannu yali efaanana ng'obusigo bw'omuwemba, naye nga langi yaabwo njeru, ya mataatata.#Laba ne Kuv 16:31 8Abantu baagendanga ne bagikuŋŋaanya, ne bagiseera ku mmengo, oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu, ne bagikolamu obugaati. Okuwooma kwayo kwali ng'okw'obugaati obusiikiddwa mu muzigo ogw'emizayiti. 9Ekiro omusulo bwe gwagwanga mu lusiisira, mannu n'egwa ku gwo.#Laba ne Kuv 16:13-15
10Musa n'awulira abantu nga beemulugunya, buli omu n'ab'omu maka ge, nga bali ku miryango gy'eweema zaabwe. Mukama n'asunguwala nnyo. Musa n'anakuwala. 11Musa n'agamba Mukama nti: “Onnanga ki nze omuweereza wo, okumpisa obubi bw'oti? Lwaki tonsaasira? Lwaki ontikka obuvunaanyizibwa ku bantu bano bonna? 12Nze naba olubuto ne nzaala abantu bano bonna, olyoke oŋŋambe nti: ‘Basitule mu kifuba, ng'omulezi bw'asitula omwana ayonka’, okubatwala mu nsi gye walayirira bajjajjaabwe? 13Ŋŋenda kuggya wa ennyama okuwa abantu bano bonna? Baabano bankaabirira nga bagamba nti: ‘Tuwe ennyama tulye.’ 14Sirina bwe nnyinza kwetikka buvunaanyizibwa bwa bantu bano bonna nzekka. Ekyo kinzitooweredde nnyo. 15Oba nga bw'oti bw'ogenda okumpisa, nkwegayiridde waakiri nzita mangu kaakano, nneme okubonaabona bwe nti.”
Musa alonda abakulembeze ensanvu
16Mukama n'agamba Musa nti: “Nkuŋŋaanyiza abasajja nsanvu, abassibwamu ekitiibwa mu Yisirayeli, b'omanyi nga bakungu, era nga bakulembeze ba bantu, obaleete ku Weema ey'Okunsisinkanirangamu, bayimirire eyo wamu naawe. 17Nze nja kukka njogerere eyo naawe. Era nja kutoolako ku Mwoyo ali ku ggwe, mmuteeke ku bo, balyoke bakuyambengako ku buvunaanyizibwa obw'okulabirira abantu, bulemenga kubeera ku ggwe wekka. 18Kaakano gamba abantu nti: ‘Mwetukuze okwetegekera olunaku olwenkya. Mujja kulya ennyama. Mukama awulidde bwe mukaaba nga mwebuuza anaabawa ennyama mulye, nga mugamba nti mwali bulungi mu Misiri. Kale Mukama anaabawa ennyama ne mulya. 19Temujja kugiriira lunaku lumu oba bbiri, nnaku ttaano oba kkumi, wadde amakumi abiri, 20naye mwezi mulamba, okutuusa lw'erifulumira mu nnyindo zammwe ne muginyiwa, kubanga mwesammudde Mukama ali mu mmwe, ne mwemulugunyiza mu maaso ge nga mugamba nti mwaviira ki mu Misiri!’ ”
21Musa n'agamba nti: “Abantu be ndi nabo bawera abasajja emitwalo nkaaga. Ggwe n'ogamba nti onoobawa ennyama bagiriire omwezi mulamba? 22Waliwo amagana g'endiga n'ente agayinza okubattirwa ne gabamala? Ne bwe babakuŋŋaanyiza ebyennyanja byonna mu nnyanja, biyinza okubamala?”
23Mukama n'addamu Musa nti: “Obuyinza bwange buliko ekkomo? Kaakano ojja kulaba oba nga kye njogedde kinaatuukirira, oba nga tekiituukirire.”
24Musa n'afuluma, n'ategeeza abantu Mukama by'ayogedde. N'akuŋŋaanya abasajja nsanvu ku bakulembeze b'abantu, n'abateekawo ne bayimirira okwetooloola Eweema. 25Mukama n'akkira mu kire, n'ayogera ne Musa. N'atoola ku Mwoyo eyali ku Musa, n'amuteeka ku bakulembeze ensanvu. Mwoyo olwakka ku bo, ne batandika okulanga, kyokka baakoma awo tebaddamu mulundi mulala.
26Naye ku bakulembeze ensanvu, babiri Elidaadi ne Meedaadi baali basigadde mu lusiisira, nga tebafulumye kujja ku Weema. Mwoyo n'akka ku bo, ne batandika okulanga nga bali mu lusiisira. 27Ne wabaawo omulenzi eyadduka n'agenda abuulira Musa nti: “Elidaadi ne Meedaadi bali eri mu lusiisira balanga.”
28Omuweereza wa Musa, era omu ku basajja be abalondemu, ayitibwa Yoswa, mutabani wa Nuuni, n'addamu ng'agamba nti: “Mukama wange Musa, bagaane!”
29Musa n'amuddamu nti: “Olumirwa nnyo ekitiibwa kyange? Nze nandyagadde, Mukama abantu be bonna abawe Mwoyo we, babe balanzi.” 30Awo Musa n'abakulembeze ensanvu ne baddayo mu lusiisira.
Mukama awa Abayisirayeli entiitiri
31Mukama n'asindika embuyaga, n'ereeta entiitiri okuva ku nnyanja, nga zibuukira mu bugulumivu nga bwa mita emu okuva ku ttaka, ne zigwa kumpi n'olusiisira okulwetooloola, ne zibuna mu kibangirizi ekya kilomita eziwerako ku buli ludda. 32Abantu ne basituka ne bagenda olunaku olwo lwonna n'ekiro kyonna, n'olunaku lwonna olwaddirira, ne bakuŋŋaanya entiitiri. Eyakuŋŋaanya entono yaweza kilo ng'enkumi bbiri. Ne bazaanika wonna wonna okwetooloola olusiisira. 33Bwe baali batandise okulya ennyama eyo kyokka nga tebannagimalawo, Mukama n'abasunguwalira nnyo, n'abasuulamu obulwadde obw'amaanyi. 34Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya “Entaana z'Okwoya”, kubanga mwe baaziika abantu abaayoya ennyama.
35Abayisirayeli bwe baava mu kifo ekyo, kye baatuuma “Entaana z'Okwoya”, ne bagenda e Hazerooti, ne basiisira eyo.
Currently Selected:
OKUBALA 11: LB03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.