MARIKO 1
1
Yowanne Omubatiza bye yategeeza abantu
(Laba ne Mat 3:1-12; Luk 3:1-18; Yow 1:19-28)
1Gano ge Mawulire Amalungi aga Yesu Kristo Omwana wa Katonda. 2Gaatandika ng'omulanzi Yisaaya bwe yawandiika nti:
“Laba, ntuma omubaka wange
akukulembere okukwerulira ekkubo.#Laba ne Mal 3:1
3Waliwo ayogerera mu ddungu
n'eddoboozi ery'omwanguka nti:
‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama,
mutereeze amakubo ge.’ ”#Laba ne Yis 40:3
4Bw'atyo ne Yowanne Omubatiza yajja mu ddungu, n'abatiza abantu, nga bw'abategeeza nti: “Mwenenye, mubatizibwe, Katonda abasonyiwe ebibi byammwe.” 5Abantu baavanga mu byalo by'omu Buyudaaya bwonna, ne mu kibuga Yerusaalemu, ne bagenda eri Yowanne, ne baatula ebibi byabwe. Olwo Yowanne n'ababatiza mu Mugga Yorudaani.
6Yowanne ono yayambalanga ekyambalo ekyakolebwa mu byoya by'eŋŋamiya, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato. Yalyanga nzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu ttale.#Laba ne 2 Bassek 1:8 7Abantu yabategeezanga nti: “Waliwo ansinga obuyinza ajja okujja. Sisaanira na kukutama kusumulula buguwa bwa ngatto ze. 8Nze mbatiza na mazzi kyokka ye, alibabatiza na Mwoyo Mutuukirivu.”
Okubatizibwa kwa Yesu
(Laba ne Mat 3:13–4:11; Luk 3:21-22; 4:1-13)
9Mu nnaku ezo, Yesu n'ava e Nazaareeti eky'omu Galilaaya, n'agenda okubatizibwa Yowanne mu Mugga Yorudaani. 10Yesu bwe yali yaakava mu mazzi, amangwago n'alaba eggulu nga libikkuse, ne Mwoyo Mutuukirivu ng'afaanana ng'ejjiba, ng'akka ku ye. 11Eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti: “Ggwe Mwana wange omwagalwa, era gwe nsiimira ddala.”#Laba ne Nta 22:2; Zab 2:7; Yis 42:1; Mat 3:17; 12:18 Mak 9:7; Luk 3:22
12Amangwago Yesu n'asindikibwa Mwoyo Mutuukirivu mu ddungu, 13n'amalayo ennaku amakumi ana, ng'akemebwa Sitaani, kyokka nga bamalayika bamuweereza.
Yesu atandika okuyigiriza mu Galilaaya
(Laba ne Mat 4:12-17; Luk 4:14-15)
14Awo Yowanne bwe yamala okuggalirwa mu kkomera, Yesu n'ajja e Galilaaya, n'ategeeza abantu Amawulire Amalungi agava eri Katonda, 15n'agamba nti: “Ekiseera ekyali kirindirirwa kituuse. Obwakabaka bwa Katonda busembedde. Mwenenye, era mukkirize Amawulire Amalungi.”#Laba ne Mat 3:2
Okuyitibwa kw'abavubi abana
(Laba ne Mat 4:18-22; Luk 5:1-11)
16Awo Yesu bwe yali ng'atambula ku lubalama lw'ennyanja ey'e Galilaaya, n'alaba abavubi Simooni ne Andereya abooluganda, nga batega obutimba mu nnyanja. 17Awo n'abayita nti: “Mujje muyitenga nange, ndibafuula abavubi b'abantu.” 18Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bagenda naye.
19Ate bwe yasemberayo mu maaso katono, n'alaba Yakobo ne Yowanne, batabani ba Zebedaayo. Baali mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe. 20Amangwago nabo n'abayita. Ne baleka awo kitaabwe Zebedaayo n'abapakasi be mu lyato, bo ne bagenda ne Yesu.
Omuntu aliko omwoyo omubi
(Laba ne Luk 4:31-37)
21Awo Yesu n'abayigirizwa be, ne batuuka mu kibuga Kafarunawumu. Amangwago, ku lunaku lwa Sabbaato, Yesu n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, n'ayigiriza. 22Abantu abaamuwulira, ne beewuunya nnyo engeri gye yayigirizaamu. Kuba yayigiriza nga nnannyinibuyinza, sso si ng'abannyonnyozi b'amateeka.#Laba ne Mat 7:28-29 23Amangwago, omuntu aliko omwoyo omubi, n'ayingira mu kkuŋŋaaniro lyabwe, n'aleekaana nnyo nti: 24“Otulanga ki ggwe Yesu Omunazaareeti? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi! Ggwe Mutuukirivu wa Katonda.”
25Yesu n'aboggolera omwoyo ogwo omubi nti: “Sirika mangu, n'omuntu oyo muveeko!”
26Omwoyo omubi ne gujugumiza omuntu oyo, ne gumuvaako nga guwowoggana.
27Bonna abaaliwo ne bawuniikirira, nga bwe beebuuzaganya nti: “Ono wa ngeri ki? Enjigiriza ye mpya, ate ejjudde obuyinza! Era alagira emyoyo emibi ne gimuwulira”
28Okuva olwo, ettutumu lye ne libuna mu nsi ey'e Galilaaya yonna n'emiriraano.
Yesu awonya abalwadde ban
29Olwava mu kkuŋŋaaniro, Yesu n'agenda negi.
Yakobo ne Yowanne mu nnyumba ya Simooni ne Andereya.
(Laba ne Mat 8:14-17; Luk 4:38-41)
30Yali yaakatuuka, ne bamubuulira nti nnyina wa muka Peetero omusujja gumuluma. 31Yesu n'agenda w'ali, n'amukwata ku mukono, n'amugolokosa. Amangwago, omusujja ne gumuwonako, n'atandika okubaweereza.
32Akawungeezi, ng'enjuba egudde, ne bamuleetera abalwadde bonna, n'abaliko emyoyo emibi. 33Era abantu ab'omu kibuga ekyo bonna ne beeyiwa wabweru ku mulyango. 34N'awonya bangi abalina endwadde eza buli ngeri. N'abaliko emyoyo emibi, n'agibagobako, nga tagikkiriza kumwatuukiriza, kubanga gyali gimumanyi.
Okuyigiriza kwa Yesu mu Galilaaya
(Laba ne Luk 4:42-44)
35Awo Yesu n'azuukuka ku makya nnyo, obudde nga tebunnalaba, n'alaga mu kifo ekitaalimu bantu, n'abeera eyo ng'asinza Katonda. 36Simooni ne banne, ne bagenda nga bamunoonyereza. 37Bwe baamulaba, ne bamugamba nti: “Abantu bonna bakunoonya.”
38Yesu n'abaddamu nti: “Tugende mu bubuga obulala obuliraanye wano, nayo njigirizeeyo, kubanga ekyo kye najjirira.”
39Bw'atyo n'atambula Galilaaya yonna, ng'ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era abantu abaliko emyoyo emibi ng'agibagobako.#Laba ne Mat 4:23; 9:35
Yesu awonya omugenge
(Laba ne Mat 8:1-4; Luk 5:12-16)
40Awo omugenge n'ajja eri Yesu, n'afukamira, n'amwegayirira nti: “Ssebo, singa oyagala, oyinza okumponya.”
41Yesu n'amukwatirwa ekisa, n'agolola omukono n'amukwatako, n'amugamba nti: “Njagala, wona.” 42Amangwago, ebigenge ne bimuwonako, n'alongooka. 43Yesu n'amukuutira nnyo era n'amusiibula amangwago, 44nga bw'amugamba nti: “Kino tokibuulirako muntu n'omu, wabula genda weeyanjule ewa kabona, oweeyo ekirabo nga Musa bwe yalagira, balyoke bakakase nti owonye.”#Laba ne Leev 14:1-32 45Naye omusajja ono bwe yagenda, n'atandika okulaalaasa wonna, nga Yesu bwe yali amuwonyezza. Olw'ekyo nga Yesu takyasobola kuyingira mu kibuga mu lwatu, wabula okubeera ebbali, mu bifo ebitaalimu bantu. Eyo abantu gye baamusanganga, nga bava wonna.
Currently Selected:
MARIKO 1: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.