YouVersion Logo
Search Icon

MARIKO Ennyanjula

Ennyanjula
Amawulire Amalungi aga Yesu Kristo nga bwe gaawandiikibwa Mariko, gatandika n'ebigambo nti: “Amawulire Amalungi agafa ku Yesu Kristo, Omwana wa Katonda.” Galaga nga ddala Yesu mukozi era wa buyinza. Obuyinza bwe bulabikira mu kuyigiriza kwe ne ku maanyi g'alina ku myoyo emibi, era ne ku kusonyiwa ebibi by'abantu. Yesu yeeyogerako ng'Omwana w'Omuntu eyajja okuwaayo obulamu bwe okuwa abantu eddembe, ng'abanunula mu bibi.
Mariko, ebifa ku Yesu abinyumya butereevu era na maanyi, nga yeesigama nnyo ku ebyo Yesu bye yakola, okusinga ku ebyo Yesu bye yayogera ne bye yayigiriza. Omuwandiisi oyo Mariko bw'amala okwogera ku Yowanne Omubatiza ne ku kubatizibwa n'okukemebwa kwa Yesu, agenda butereevu ku mulimu Yesu gwe yakola ogw'okuwonya era n'okuyigiriza abantu. Omuwandiisi alaga nga mpolampola abagoberezi ba Yesu baagenda beeyongera okumutegeera, nga bo abalabe be beeyongera kumukyawa.
Ekitundu ekisembayo kiraga ebyaliwo mu wiiki eyafundikira obulamu bwa Yesu ku nsi, naddala okuttibwa kwe ng'akomererwa ku musaalaba, okuziikibwa era n'okuzuukira kwe.
Ekitundu ekikomererayo ddala ekisibiddwa mu bukomera […] kirowoozebwa nti kyawandiikibwa muntu mulala atali Omuwandiisi yennyini Mariko.
Ebiri mu kitabo kino mu bufunze
Entandikwa y'Amawulire Amalungi 1:1-13
Omulimu gwa Yesu gwe yakola mu Galilaaya 1:14–9:50
Okuva e Galilaaya okugenda e Yerusaalemu 10:1-52
Wiiki eyasembayo mu Yerusaalemu ne ku miriraano gyakyo 11:1–15:47
Okuzuukira kwa Yesu 16:1-8
Okulabika kwa Yesu era n'okulinnya kwe mu ggulu ng'amaze okuzuukira 16:9-10

Currently Selected:

MARIKO Ennyanjula: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in