1
MARIKO 1:35
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Awo Yesu n'azuukuka ku makya nnyo, obudde nga tebunnalaba, n'alaga mu kifo ekitaalimu bantu, n'abeera eyo ng'asinza Katonda.
Compare
Explore MARIKO 1:35
2
MARIKO 1:15
n'agamba nti: “Ekiseera ekyali kirindirirwa kituuse. Obwakabaka bwa Katonda busembedde. Mwenenye, era mukkirize Amawulire Amalungi.”
Explore MARIKO 1:15
3
MARIKO 1:10-11
Yesu bwe yali yaakava mu mazzi, amangwago n'alaba eggulu nga libikkuse, ne Mwoyo Mutuukirivu ng'afaanana ng'ejjiba, ng'akka ku ye. Eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti: “Ggwe Mwana wange omwagalwa, era gwe nsiimira ddala.” Mak 9:7; Luk 3:22
Explore MARIKO 1:10-11
4
MARIKO 1:8
Nze mbatiza na mazzi kyokka ye, alibabatiza na Mwoyo Mutuukirivu.”
Explore MARIKO 1:8
5
MARIKO 1:17-18
Awo n'abayita nti: “Mujje muyitenga nange, ndibafuula abavubi b'abantu.” Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bagenda naye.
Explore MARIKO 1:17-18
6
MARIKO 1:22
Abantu abaamuwulira, ne beewuunya nnyo engeri gye yayigirizaamu. Kuba yayigiriza nga nnannyinibuyinza, sso si ng'abannyonnyozi b'amateeka.
Explore MARIKO 1:22