MARIKO 2
2
Yesu awonya omulwadde w'olukonvuba
(Laba ne Mat 9:1-8; Luk 5:17-26)
1Nga wayiseewo ennaku, Yesu n'akomawo mu kibuga Kafarunawumu. Abantu bwe baawulira ng'azze mu maka agamu, 2ne bakuŋŋaana bangi, nga ne mu luggya tebakyagyamu. Yesu bwe yali ng'abategeeza ekigambo kya Katonda, 3ne wajjawo abaamuleetera omulwadde akonvubye, nga yeetikkiddwa abantu bana. 4Bwe baalemwa okumutuusa awali Yesu, olw'obungi bw'abantu, ne basereekulula ekitundu ky'akasolya k'ennyumba Yesu mwe yali, ne bayisa omulwadde mu mwagaanya ogwo, ng'agalamidde ku katanda kwe baamuleetera. 5Yesu bwe yalaba nga balina okukkiriza, n'agamba akonvubye nti: “Mwana wange, ebibi byo bikusonyiyiddwa.”
6Olwo abannyonnyozi b'amateeka abaali batudde awo, ne balowooza mu mitima gyabwe nti: 7“Ono ayinza atya okwogera bw'atyo? Yeeyita Katonda? Ggwe kale ani alina obuyinza okusonyiwa ebibi, okuggyako Katonda?” 8Amangwago Yesu n'ategeera mu mwoyo gwe, ebyali mu birowoozo byabwe. Kyeyava abagamba nti: “Lwaki mulowooza mutyo mu mitima gyammwe? 9Ekisingako obwangu kye kiruwa, okugamba akonvubye nti: ‘Ebibi byo mbikusonyiye,’ oba nti: ‘Yimirira, weetikke akatanda ko, otambule?’ 10Kaakano ka mbalage nti Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo n'agamba akonvubye nti: 11“Yimirira. Weetikke akatanda ko, oddeyo ewammwe.” 12Amangwago, omusajja n'ayimirira, bonna nga balaba, n'asitula akatanda ke, n'atambula. Bonna ne bawuniikirira, ne batendereza Katonda, ne bagamba nti: “Kino tetukirabangako!”
Yesu ayita Leevi
(Laba ne Mat 9:9-13; Luk 5:27-32)
13Awo Yesu n'addayo nate ku lubalama lw'Ennyanja ey'e Galilaaya. Abantu ne bajja bangi nnyo, n'abayigiriza. 14Bwe yali ng'atambula, n'alaba Leevi, omusolooza w'omusolo. Yesu n'amugamba nti: “Jjangu oyitenga nange.” Ne Leevi n'asituka n'amugoberera.
15Oluvannyumako, Yesu n'agenda n'abayigirizwa be ewa Leevi ku kijjulo. Abasolooza b'omusolo bangi n'aboonoonyi, nabo ne bagenda naye. Bonna ne batuula ne Yesu okulya. 16Abamu ku bannyonnyozi b'amateeka ab'omu kibiina ky'Abafarisaayo, bwe baalaba Yesu ng'aliira wamu n'aboonoonyi n'abasolooza b'omusolo, ne bagamba abayigirizwa be nti: “Lwaki aliira wamu n'abasolooza b'omusolo era n'aboonoonyi?”
17Yesu bwe yawulira kye babuuza, ye yennyini n'abaddamu nti: “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde. Abalungi si be najja okuyita, wabula aboonoonyi.”
Okusiiba
(Laba ne Mat 9:14-17; Luk 6:33-39)
18Mu kiseera ekyo, abayigirizwa ba Yowanne Omubatiza n'Abafarisaayo baali basiiba. Awo abantu abamu ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti: “Lwaki abayigirizwa ba Yowanne Omubatiza n'abayigirizwa b'Abafarisaayo basiiba, naye ababo ne batasiiba?”
19Yesu n'abaddamu nti: “Abayite ku mbaga y'obugole tebayinza butalya, ng'awasizza omugole akyali nabo. Ekiseera kyonna ky'amala nabo, tebasiiba. 20Naye ekiseera kirituuka, awasizza omugole abaggyibweko. Olwo balitandika okusiiba.
21“Omuntu tatunga mu lugoye, lukadde kiwero kiggya ekitannayozebwamu, kubanga bwe kyetugga, kyekutula ku lugoye olukadde, ne kitwalirako n'ekitundu kyalwo, olwo ekituli ne kyeyongera obunene. 22Era omwenge ogw'emizabbibu omusu tegufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba enkadde. Singa kino kikolebwa, guzaabya, omwenge ogwo n'ensawo n'obifiirwa. Naye omwenge ogw'emizabbibu omusu, gufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba empya.”
Omwana w'Omuntu ne Sabbaato
(Laba ne Mat 12:1-8; Luk 6:1-5)
23Olumu Yesu yali ayita mu nnimiro y'eŋŋaano ku lunaku olwa Sabbaato, abayigirizwa be abaali bayise naye, ne bagenda nga banoga ku birimba.#Laba ne Ma 23:25 24Abafarisaayo ne bagamba Yesu nti: “Lwaki abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa kukolebwa ku Sabbaato?”
25Ye n'abaddamu nti: “Temusomangako ekyo Dawudi kye yakola, bwe yali nga talina kyakulya? Ye ne be yali nabo, bwe baalumwa enjala,#Laba ne 1 Sam 21:1-6 26yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'alya ku migaati egyali giweereddwayo eri Katonda. Kino yakikola, Abiyataari bwe yali nga ye Ssaabakabona, sso ng'emigaati egyo gyali tegikkirizibwa kuliibwako bantu balala, wabula bakabona bokka. Kyokka Dawudi yagiryako, era n'awaako n'abaali naye.”#Laba ne Leev 24:9
27Awo Yesu n'agamba Abafarisaayo nti: “Olunaku lwa Sabbaato lwassibwawo lwa bulungi bwa muntu, sso omuntu teyatonderwa Sabbaato. 28N'olwekyo Omwana w'Omuntu alina obuyinza okusalawo ekisaanye okukolebwa ku Sabbaato.”
Currently Selected:
MARIKO 2: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.