YAKOBO 1
1
1Nze Yakobo omuweereza wa Katonda era owa Mukama waffe Yesu Kristo, mbalamusa mmwe ab'ebika ekkumi n'ebibiri ebisaasaanye wonna.#Laba ne Mat 13:55; Mak 6:3; Bik 15:13; Bag 1:19
Okukkiriza era n'amagezi
2Abooluganda, bwe mutuukibwangako ebizibu ebya buli ngeri, musanyukenga, 3nga mumanyi nti okukkiriza kwammwe bwe kugezebwa, kibaviiramu okugumiikiriza. 4Okugumiikiriza bwe kunywerera ddala mu mmwe, mufuuka bantu abatuukiriridde ddala era abatalina kibabulako.
5Oba nga mu mmwe waliwo abuliddwa amagezi, asabe Katonda agabira bonna n'ekisa awatali kukodowala, galimuweebwa. 6Kyokka asabe ng'alina okukkiriza, nga tabuusabuusa n'akatono. Abuusabuusa, afaanaanyirizibwa n'ejjengo ly'ennyanja, empewo ly'etwala n'erizza eno n'eri. 7Omuntu ow'engeri eyo aleme kulowooza ng'aliko ky'alifuna okuva eri Mukama, 8kubanga wa myoyo ebiri, buli gy'adda tanywererayo.
Abaavu n'abagagga
9Owooluganda atali wa kitiibwa, asaanidde asanyuke nga Katonda amugulumizza. 10N'omugagga naye asaanidde asanyuke nga Katonda amutoowazizza, kubanga omugagga aliggwaawo ng'ekimuli ky'omuddo.#Laba ne Yis 40:6-7 11Enjuba bw'eyaka n'ebbugumu lyayo eringi, ekaza omuddo, ekimuli kyagwo ne kigwa, n'obulungi bw'endabika yaakyo ne buggwaawo. N'omugagga bw'atyo bw'alikala, ng'ali mu ebyo bye yettanira.
Okukemebwa era n'okugezebwa
12Omuntu agumiikiriza mu kugezebwa yeesiimye, kubanga bw'alimala okuwangula, aliweebwa engule ey'obulamu, Katonda gye yasuubiza abamwagala. 13Omuntu bw'akemebwanga, tagambanga nti: “Katonda ye ankema.” Katonda takemebwa kibi, era ye yennyini takema muntu n'omu. 14Wabula buli akemebwa, asikirizibwa era asendebwasendebwa kwegomba kwe. 15Okwegomba okwo ne kulyoka kuba olubuto, ne kuzaala ekibi, ate ekibi ekyo bwe kimala okukula, ne kizaala okufa.
16Kale nno baganda bange abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga. 17Buli kirabo ekirungi, na buli kitone ekituukiridde, kiva mu ggulu, ne kikka okuva eri Katonda Kitaffe eyatonda ebyakira ku ggulu, atayinza kuba na kufuukafuuka, wadde okulimbalimba. 18Yateesa ku bubwe, n'atuzaala n'ekigambo eky'amazima, tulyoke tubeere n'ekifo ekisooka mu bitonde bye.
Okuwulira n'okukola
19Baganda bange abaagalwa, mumanye kino nti buli muntu abeerenga mwangu okuwulira, kyokka alemenga kubuguutanira kwogera, era alemenga kusunguwala mangu, 20kubanga obusungu bw'omuntu tebukola ebyo Katonda by'ayagala.
21Kale mulekenga emize gyonna n'empisa embi. Mukkirize n'obuwombeefu ekigambo kya Katonda ekyasigibwa mu mmwe, ekiyinza okulokola obulamu bwammwe.
22Ekigambo ekyo mukikolerengako, mulemenga kwerimba, nga mukoma ku kukiwulira buwulizi. 23Awulira obuwulizi ekigambo n'atakikolerako, afaanaanyirizibwa n'omuntu eyeeraba mu ndabirwamu. 24Yeeraba n'agenda, ate amangwago ne yeerabira bw'afaananye. 25Kyokka eyeetegereza amateeka amatuufu agatufuula ab'eddembe, n'aganywererako, atali awulira obuwulizi ne yeerabira, wabula omukozi atuukiriza bye galagira, oyo anaaweebwanga omukisa mu by'akola.
26Buli eyeerowooza nga wa ddiini, kyokka n'atafuga lulimi lwe, oyo yeerimba bwerimbi, eddiini ye teriiko ky'egasa. 27Eddiini entuufu era eteriiko kamogo mu maaso ga Katonda Kitaffe, ye eno: okulabiriranga bamulekwa ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n'okwekuumanga ensi ereme kutwonoona.
Currently Selected:
YAKOBO 1: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.