YAKOBO Ennyanjula
Ennyanjula
Ebbaluwa eyawandiikibwa Yakobo erimu ebiyigirizibwa bingi omuwandiisi bye yakuŋŋaanyiza “Abantu ba Katonda bonna gye basaasaanidde wonna mu nsi, eby'okubayamba mu bulamu bwabwe obwa buli lunaku.” Omuwandiisi ayogera ku bintu bingi, okugeza obugagga n'obwavu, ebikemo, obutasosola mu bantu, okukkiriza era n'ebikolwa ebirungi, enkozesa y'olulimi era n'amagezi, okugumiikiriza, obwetoowaze n'okwekuza, okusalira abalala omusango, okwewaanawaana, okusinza Katonda n'okukomyawo aboonoonyi. Ebyo byonna abyogerako, ng'ayagala okuluŋŋamya abantu mu bulamu bwabwe obwa bulijjo.
Ebbaluwa eno eggumiza obukulu bw'okukola ebikolwa ebirungi nga bigendera wamu n'ekirabo eky'okukkiriza, nga tutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe abagoberezi ba Kristo.
Ebiri mu bbaluwa eno mu bufunze
Ennyanjula 1:1
Okukkiriza era n'amagezi 1:2-8
Obwavu n'obugagga 1:9-11
Okugezebwa n'okukemebwa 1:12-18
Okuwulira n'okukola 1:19-27
Obutasosola mu bantu 2:1-13
Okukkiriza era n'ebikolwa ebirungi 2:14-26
Okufuga olulimi 3:1-18
Omugoberezi wa Kristo n'okukolagana n'ensi 4:1–5:6
Ebiyigirizibwa ebitali bimu 5:7-20
Currently Selected:
YAKOBO Ennyanjula: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.