Bible App logo
Search Icon

YAKOBO 2

2
Obutasosola mu bantu
1Baganda bange, mmwe abakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo oweekitiibwa, temusosolanga mu bantu. 2Omuntu ayambadde engoye ennungi, n'empeta eya zaabu, bw'ayingira mu kkuŋŋaaniro lyammwe, n'omwavu ayambadde enziina naye n'ayingira, 3ne mwaniriza ayambadde engoye ennungi, ne mumugamba nti: “Ggwe tuula wano awalungi”, ate ne mugamba omwavu nti: “Ggwe yimirira eri”, oba nti: “Tuula wansi, we nteeka ebigere byange”, 4muba temwefudde balamuzi abalina endowooza embi?
5Muwulire baganda bange abaagalwa! Abaavu mu nsi, Katonda si be yalonda okuba abagagga mu kukkiriza, n'okufuna Obwakabaka bwe yasuubiza abamwagala? 6Naye mmwe munyooma omwavu. Abagagga si be babanyigiriza mmwe, ne babasikaasikanya okubatwala mu mbuga z'amateeka? 7Si be bo abavvoola erinnya eddungi lye muyitibwa?
8Naye bwe mutuukiriza etteeka erisingira ddala amateeka gonna, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini,” muba mukoze bulungi.#Laba ne Leev 19:18 9Naye bwe musosola mu bantu, muba mukoze bubi, era etteeka libasingisa omusango ogw'abamenyi b'amateeka.
10Buli akwata amateeka gonna, kyokka n'asobya mu limu, aba n'omusango ogw'okumenya amateeka gonna, 11kubanga eyagamba nti: “Toyendanga”, era ye yagamba nti: “Tottanga muntu”. Kale bw'otoyenda, naye n'otta omuntu, oba mumenyi wa mateeka.#Laba ne Kuv 20:13,14; Ma 5:17,18
12N'olwekyo mwogerenga era mukolenga ng'ab'okusalirwa omusango, ng'amateeka agatufuula ab'eddembe bwe gali. 13Atalina kisa, alisalirwa omusango eri Katonda awatali kisa. Naye ekisa kiwonya omuntu okusingibwa omusango.
Okukkiriza era n'ebikolwa ebirungi
14Baganda bange, kigasa ki omuntu bw'agamba nti alina okukkiriza, sso nga talina bikolwa birungi? Okukkiriza okwo kuyinza okumulokola?
15Bwe wabaawo owooluganda omusajja oba omukazi atalina ky'ayambala, era atalina kyakulya kimumala buli lunaku, 16omu ku mmwe n'amugamba nti: “Genda mirembe, obugume era okkute,” kyokka nga tamuwadde bye yeetaaga, ekyo kigasa ki? 17N'okukkiriza bwe kutyo: bwe kuba kwokka, nga tekuliiko bikolwa birungi, kuba kufu.
18Naye oli ayinza okugamba nti: “Ggwe olina okukkiriza, nze nnina ebikolwa ebirungi.” Ndaga omuntu bw'aba n'okukkiriza, nga talina bikolwa birungi, nange nkulage okukkiriza kwange, nga nsinziira ku bikolwa byange ebirungi.
19Okkiriza nga Katonda ali omu? Kirungi. Naye n'emyoyo emibi gikikkiriza, era ne gikankana olw'okutya.
20Musirusiru ggwe, oyagala okumanya nti okukkiriza okutalina bikolwa birungi tekuliiko kye kugasa? 21Jjajjaffe Aburahamu, teyasiimibwa Katonda lwa bikolwa bye, bwe yawaayo omwana we Yisaaka ku kyoto okumwokya?#Laba ne Nta 22:1-14 22Olaba nti okukkiriza kwe, kwagendera wamu n'ebikolwa bye, okukkiriza ne kutuukirira olw'ebikolwa. 23Olwo ekyawandiikibwa ne kituukirira ekigamba nti: “Aburahamu yakkiriza Katonda, era olw'okukkiriza kwe, Katonda n'amukakasa okuba omutuukirivu, era n'amuyita mukwano gwe.”#Laba ne Nta 15:6; 2 Byom 20:7; Yis 41:8 24Mulaba nti omuntu asiimibwa Katonda lwa bikolwa birungi by'akola, sso si lwa kukkiriza kwokka.
25Ne ku Rahabu malaaya si bwe kyali? Teyasiimibwa Katonda lwa bikolwa bye ebirungi, kubanga yayaniriza ababaka, n'abayamba okudduka ng'abayisa mu kkubo eddala?#Laba ne Yos 2:1-21
26Kale nno ng'omubiri ogutaliimu mwoyo bwe guba omufu, n'okukkiriza bwe kutyo: bwe kutabaamu bikolwa birungi, kuba kufu.

Currently Selected:

YAKOBO 2: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in