1
YAKOBO 1:2-3
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Abooluganda, bwe mutuukibwangako ebizibu ebya buli ngeri, musanyukenga, nga mumanyi nti okukkiriza kwammwe bwe kugezebwa, kibaviiramu okugumiikiriza.
Compare
Explore YAKOBO 1:2-3
2
YAKOBO 1:5
Oba nga mu mmwe waliwo abuliddwa amagezi, asabe Katonda agabira bonna n'ekisa awatali kukodowala, galimuweebwa.
Explore YAKOBO 1:5
3
YAKOBO 1:19
Baganda bange abaagalwa, mumanye kino nti buli muntu abeerenga mwangu okuwulira, kyokka alemenga kubuguutanira kwogera, era alemenga kusunguwala mangu
Explore YAKOBO 1:19
4
YAKOBO 1:4
Okugumiikiriza bwe kunywerera ddala mu mmwe, mufuuka bantu abatuukiriridde ddala era abatalina kibabulako.
Explore YAKOBO 1:4
5
YAKOBO 1:22
Ekigambo ekyo mukikolerengako, mulemenga kwerimba, nga mukoma ku kukiwulira buwulizi.
Explore YAKOBO 1:22
6
YAKOBO 1:12
Omuntu agumiikiriza mu kugezebwa yeesiimye, kubanga bw'alimala okuwangula, aliweebwa engule ey'obulamu, Katonda gye yasuubiza abamwagala.
Explore YAKOBO 1:12
7
YAKOBO 1:17
Buli kirabo ekirungi, na buli kitone ekituukiridde, kiva mu ggulu, ne kikka okuva eri Katonda Kitaffe eyatonda ebyakira ku ggulu, atayinza kuba na kufuukafuuka, wadde okulimbalimba.
Explore YAKOBO 1:17
8
YAKOBO 1:23-24
Awulira obuwulizi ekigambo n'atakikolerako, afaanaanyirizibwa n'omuntu eyeeraba mu ndabirwamu. Yeeraba n'agenda, ate amangwago ne yeerabira bw'afaananye.
Explore YAKOBO 1:23-24
9
YAKOBO 1:27
Eddiini entuufu era eteriiko kamogo mu maaso ga Katonda Kitaffe, ye eno: okulabiriranga bamulekwa ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n'okwekuumanga ensi ereme kutwonoona.
Explore YAKOBO 1:27
10
YAKOBO 1:13-14
Omuntu bw'akemebwanga, tagambanga nti: “Katonda ye ankema.” Katonda takemebwa kibi, era ye yennyini takema muntu n'omu. Wabula buli akemebwa, asikirizibwa era asendebwasendebwa kwegomba kwe.
Explore YAKOBO 1:13-14
11
YAKOBO 1:9
Owooluganda atali wa kitiibwa, asaanidde asanyuke nga Katonda amugulumizza.
Explore YAKOBO 1:9