ABEEBUREEYI 6
6
1Kale ka tuleke ebyo ebisookerwako mu kunnyonnyola ku Kristo,tweyongere mu maaso okuyiga ebisingawo era eby'ekikulu mu kumukkiriza. Twabayigiriza dda ebigambo ebiri ng'omusingi, era tetwetaaga kubiddamu. Mumanyi bwe kitagasa okgezaakookulokolebwa nga tuyita mu bikolwa byaffe, era mumanyi obukulu obuli mu kukkiriza Katonda.
2Twabayigiriza dda ebifa ku kubatizibwa okwa buli ngeri, n'okussibwako emikono. Mumanyi ebifa ku kuzuukira ne ku kusalirwa omusango okutalikyukako. 3Kaakano ka tugende ku bikulu, era ekyo kye tunaakolanga, Katonda ng'ayagadde. 4Kubanga abo abaamala okufuna ekitangaala kya Katonda, ate ne bakivaamu, tekiriyinzika kubakomyawo mu kwenenya. Baalega ku kirabo eky'omu ggulu, ne bafuna Mwoyo Mutuukirivu. 5Baamanya obulungi bw'ekigambo kya Katonda, era n'amaanyi ag'emirembe egigenda okujja. 6Ate kaakano baddamu okukomerera ku musaalaba Omwana wa Katonda, era ne bamuswaza mu lwatu.
7Ettaka erinywa enkuba eritonnyako emirundi emingi, ne likuza ebimera abalirima bye beetaaga, Katonda aliwa omukisa. 8Naye bwe likuza amaggwa n'omuddo, liba terikyagasa, era nga lirindiridde kuvumirirwa na kuzikirizibwa muliro.#Laba ne Nta 3:17-18
9Naye abaagalwa, newaakubadde nga twogera bwe tutyo mmwe tetubabuusabuusaamu. Tumanyi nti muli bulungi, era muli mu kkubo eritutuusa mu kulokolebwa, 10kubanga Katonda mwenkanya, tayinza kwerabira mulimu gwe mwakola, n'okwagala kwe mwamulaga mu buyambi bwe mwawa, era bwe muwa abantu be. 11Era twagala nno buli omu mu mmwe okulaganga obunyiikivu obwo, okutuusa ku nkomerero, lwe mulifuna kye musuubira. 12Tetwagala mube bagayaavu, wabula mube ng'abo abakkiriza era abagumiikiriza, ne bafuna ebyasuubizibwa.
13Katonda bwe yasuubiza Aburahamu, yeerayirira yekka, kubanga tewaaliwo amusinga bukulu, gw'ayinza kulayira. 14Yagamba nti: “Mazima ndikuwa omukisa, ne njaza ezzadde lyo.”#Laba ne Nta 22:16-17 15Aburahamu yagumiikiriza, bw'atyo n'afuna Katonda kye yamusuubiza.
16Abantu balayira oyo abasinga obukulu, era ekirayiro bwe bukakafu obusalawo empaka zaabwe zonna. 17Katonda kyeyava alayira, akakase bye yasuubiza. Yayagala okukakasiza ddala abo abalifuna ebyasuubizibwa, nti bye yasuubiza talibikyusa. 18Katonda yakola ebintu bibiri ebitajjulukuka, era by'atayinza kulimbiramu: yasuubiza, era n'alayira. N'olwekyo ffe abadduka okunoonya obubudamo mu ye, tuddamu nnyo amaanyi, ne tunyweza essuubi lye tuluubirira.
19Essuubi eryo lye linywereza ddala emitima gyaffe ng'ennanga bw'enyweza eryato. Era liyingirira ddala mu kifo ekitukuvu, ekiri emabega w'olutimbe,#Laba ne Leev 16:2 20Yesu gye yatusooka okuyingira ku lwaffe, ng'afuuse Ssaabakabona mu lubu lwa Melikizeddeki.#Laba ne Zab 110:4
Currently Selected:
ABEEBUREEYI 6: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.