ABEEBUREEYI 5
5
1Buli ssaabakabona, alondebwa mu bantu n'ateekebwawo okuweereza Katonda ku lwabwe. Awaayo ebirabo n'ebitambiro eri Katonda olw'ebibi byabwe. 2Asobola okukwata empola abo abatamanyi n'abawaba, kubanga naye yennyini munafu mu bintu bingi. 3Era olw'obunafu obwo, ateekwa okuwaayo ebitambiro olw'ebibi bye, nga bw'awaayo olw'ebibi by'abantu abalala.#Laba ne Leev 9:7 4Tewali ayinza kwewa kitiibwa ekyo, okuggyako oyo Katonda gw'ayise, nga Arooni bwe yayitibwa.#Laba ne Kuv 28:1
5Bw'atyo ne Kristo teyeewa yekka kitiibwa kya bwa ssaabakabona, wabula kyamuweebwa Katonda eyamugamba nti:
“Oli Mwana wange,
olwaleero nkuzadde.”#Laba ne Zab 2:7
6Era awalala Katonda agamba nti:
“Ggwe oli kabona emirembe gyonna,
mu lubu lwa Melikizeddeki.”#Laba ne Zab 110:4
7Yesu mu bulamu bwe obw'oku nsi, mu ddoboozi ery'omwanguka ne mu maziga, yeegayirira era n'asaba Katonda eyalina obuyinza okumuwonya okufa. Era yawulirwa, kubanga yassangamu Katonda ekitiibwa.#Laba ne Mat 26:36-46; Mak 14:32-42; Luk 22:39-46 8Newaakubadde nga yali Mwana wa Katonda, yayiga obuwulize, ng'abuyigira mu ebyo bye yabonaabonamu. 9Bwe yamala okutuukirira, n'afuuka ensulo y'obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abamugondera, 10era Katonda n'amufuula Ssaabakabona mu lubu lwa Melikizeddeki.
Okulabula
11Tulina bingi eby'okwogera ku ekyo, era ebizibu okubannyonnyola, kubanga muteegera mpola. 12Kuba newaakubadde nga kaakano mwandibadde muli bayigiriza, naye era mukyetaaga ow'okubayigiriza ebisookerwako mu kuyiga ekigambo kya Katonda. Era mukyasaanira mata, sso si mmere nkalubo.#Laba ne 1 Kor 3:2 13Buli akyasaanira amata, aba akyali mwana muto, atayawula kituufu na kikyamu. 14Naye emmere enkalubo ya bantu bakulu, abamaze okuyiga ne bamanya okwawula ekirungi n'ekibi.
Currently Selected:
ABEEBUREEYI 5: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.