1
ABEEBUREEYI 6:19
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Essuubi eryo lye linywereza ddala emitima gyaffe ng'ennanga bw'enyweza eryato. Era liyingirira ddala mu kifo ekitukuvu, ekiri emabega w'olutimbe
Compare
Explore ABEEBUREEYI 6:19
2
ABEEBUREEYI 6:10
kubanga Katonda mwenkanya, tayinza kwerabira mulimu gwe mwakola, n'okwagala kwe mwamulaga mu buyambi bwe mwawa, era bwe muwa abantu be.
Explore ABEEBUREEYI 6:10
3
ABEEBUREEYI 6:18
Katonda yakola ebintu bibiri ebitajjulukuka, era by'atayinza kulimbiramu: yasuubiza, era n'alayira. N'olwekyo ffe abadduka okunoonya obubudamo mu ye, tuddamu nnyo amaanyi, ne tunyweza essuubi lye tuluubirira.
Explore ABEEBUREEYI 6:18
4
ABEEBUREEYI 6:1
Kale ka tuleke ebyo ebisookerwako mu kunnyonnyola ku Kristo,tweyongere mu maaso okuyiga ebisingawo era eby'ekikulu mu kumukkiriza. Twabayigiriza dda ebigambo ebiri ng'omusingi, era tetwetaaga kubiddamu. Mumanyi bwe kitagasa okgezaakookulokolebwa nga tuyita mu bikolwa byaffe, era mumanyi obukulu obuli mu kukkiriza Katonda.
Explore ABEEBUREEYI 6:1