ABEEBUREEYI 3
3
Yesu ye asinga Musa
1Kale abooluganda era abantu ba Katonda, abaayitibwa okugabana ku bulamu obw'omu ggulu, mulowooze ku Yesu, Omutume era Ssaabakabona ow'eddiini gye tukkiriza. 2Yali mwesigwa eri Katonda eyamulonda okukola omulimu ogwo, nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna.#Laba ne Kubal 12:7
3Naye ng'omuzimbi bw'aba n'ekitiibwa ekisinga eky'ennyumba gye yazimba, bw'atyo ne Yesu asaanira ekitiibwa ekisinga ekya Musa. 4Buli nnyumba ebaako eyagizimba. Naye eyazimba byonna ye Katonda.
5Ne Musa yali mwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna. Yali muweereza eyakakasa ebyo Katonda bye yali agenda okwogera. 6Kyokka Kristo mwesigwa ng'Omwana akulira ennyumba ya Katonda. Ffe nnyumba ya Katonda, kasita tusigala bulijjo nga tuli banywevu, nga tulina essuubi eryo lye tweyagaliramu.
Ekiwummulo ky'abantu ba Katonda
7Kale nga Mwoyo Mutuukirivu bw'agamba:
“Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,#Laba ne Zab 95:7-11
8temukakanyaza mitima gyammwe,
nga bajjajjammwe bwe baajeema
ku lunaku lwe baakemerako Katonda
mu ddungu.
9Eyo gye bankemera
ne bangeza,
ne balaba bye nakola
mu myaka amakumi ana.
10Kyennava nsunguwalira
abantu abo,
ne ŋŋamba nti:
‘Bulijjo baba bakyamu
mu kulowooza kwabwe,
tebamanyanga mateeka gange.’
11Nasunguwala
ne ndayira nti:
‘Siribawa kiwummulo n'akatono.’ ”
12Kale, abooluganda, mwegendereze, waleme kubaawo n'omu ku mmwe aba n'omutima omukakanyavu era ogutakkiriza, n'ava ku Katonda Nnannyinibulamu. 13Mu kifo ky'okuva ku Katonda, mubuuliriragane buli lunaku, nga “Olwaleero” lukyaliwo, waleme kubaawo n'omu ku mmwe obulimba bw'ekibi gwe bukakanyaza omutima, 14kubanga twafuuka abassa ekimu mu Kristo, kasita tunywereza ddala obwesige bwaffe bwe twatandika nabwo, ne tubutuusa ku nkomerero. 15Ekyawandiikibwa kigamba nti:
“Olwaleero bwe munaawulira
eddoboozi lya Katonda,
temukakanyaza mitima gyammwe,
nga bajjajjammwe
bwe beewaggula ku Katonda.”#Laba ne Zab 95:7-8
16Be baani abaawulira eddoboozi lya Katonda ne bamujeemera? Be bo bonna Musa be yakulembera n'abaggya mu Misiri.#Laba ne Kubal 14:1-35 17Era be baani Katonda be yasunguwalira okumala emyaka amakumi ana? Be bo abaayonoona, ne bafa, era emirambo gyabwe ne gisigala mu ddungu. 18Era be baani be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye? Be bo abaamujeemera. 19Kale tulaba nti baalemwa okuyingira lwa butakkiriza bwabwe.
Currently Selected:
ABEEBUREEYI 3: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.