ABEEBUREEYI 4
4
1Ekyo Katonda kye yatusuubiza eky'okuyingira mu kiwummulo kye, kikyaliwo. Kale tutye, sikulwa nga wabaawo ku mmwe alemwa okuyingira mu kiwummulo ekyo. 2Naffe twawulira Amawulire Amalungi, nga nabo bwe baagawulira. Naye bye baawulira, tebyabagasa, kubanga bwe baabiwulira, tebaabikkiriza. 3Ffe abakkiriza, ffe tuyingira mu kiwummulo ekyo, nga Katonda bwe yagamba nti:
“Nasunguwala ne ndayira nti:
‘Siribawa kiwummulo n'akatono.’ ”
Kino yakyogera, newaakubadde ng'emirimu gye gyaggwa, bwe yamala okutonda ensi.#Laba ne Zab 95:11 4Olunaku olw'omusanvu lulina we lwogererwako, awagamba nti: “Katonda n'awummula emirimu gye gyonna ku lunaku olw'omusanvu.”#Laba ne Nta 2:2 5Kino era kyogerwako nti: “Siribawa kiwummulo n'akatono.”#Laba ne Zab 95:11
6Abo abaasooka okuwulira Amawulire Amalungi, tebaayingira mu kiwummulo ekyo, olw'obutakkiriza bwabwe. N'olwekyo waliwo abalala abakkirizibwa okuyingira. 7Ekyo kiri bwe kityo, kubanga Katonda yateekawo olunaku oluyitibwa “Leero.” Nga wayiseewo emyaka mingi, Katonda alwogerako ng'ayita mu Dawudi, nga bwe twagambye waggulu nti:
“Leero bwe munaawulira
eddoboozi lya Katonda,
temukakanyaza mitima gyammwe.”#Laba ne Zab 95:7-8
8Singa Yoswa yabatuusa mu kiwummulo, oluvannyuma Katonda teyandyogedde ku lunaku lulala.#Laba ne Ma 31:7; Yos 22:4 9N'olwekyo abantu ba Katonda bakyalinawo ekiwummulo eky'oku lunaku olw'omusanvu, 10kubanga buli muntu, Katonda gw'awa ekiwummulo, awummula emirimu gye, nga Katonda bwe yawummula egigye.#Laba ne Nta 2:2 11Kale tufubenga okufuna ekiwummulo ekyo, waleme kubaawo alemwa kuyingira olw'okujeema nga bali.
12Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola, era kyogi okusinga ekitala ekirina obwogi ku njuuyi zaakyo zombi. Kiyingirira ddala munda, ne kituuka n'okwawula omutima n'omwoyo, ennyingo n'obusomyo, era kyekenneenya ebirowoozo n'okufumiitiriza okw'omu mutima. 13Tewali kitonde na kimu kiyinza kwekweka Katonda. Ebintu byonna byeruliddwa era birabibwa Katonda, era oyo gwe tugenda okuwoleza.
Yesu Ssaabakabona
14Kale tunywereze ddala okukkiriza kwaffe kwe twatula, kubanga tulina Ssaabakabona omukulu bw'atyo, Yesu Omwana wa Katonda, eyayingirira ddala eri Katonda. 15Ssaabakabona gwe tulina, alumirwa wamu naffe, mu bunafu bwaffe, kubanga mu byonna yakemebwa nga ffe bwe tukemebwa, kyokka n'atakola kibi. 16Kale tugume okusemberera entebe ya Katonda nnannyini kisa, alyoke atusaasire, era atukwatirwe ekisa buli lwe tuba twetaaga okuyambibwa.
Currently Selected:
ABEEBUREEYI 4: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.