ABEEBUREEYI 2
2
Obulokozi obukulu
1N'olwekyo kyetuva tuteekwa okunywerera ddala ku ebyo bye twawulira, sikulwa nga tubivaako. 2Oba ng'ebyo ebyayogerwa bamalayika byakakasibwa nga bya mazima, era buli ataabigobereranga, oba eyabijeemeranga, yaweebwanga ekibonerezo ekimusaanira, 3kale ffe tuliwona tutya ekibonerezo, bwe tuligayaalirira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obwo Mukama yennyini ye yasooka okubutegeeza abantu, era abo abaabuwulira, ne batukakasa nga bwe buli obw'amazima. 4Ne Katonda yennyini n'akakasa ebigambo byabwe, ng'akola ebyewuunyo n'ebyamagero era n'eby'amaanyi ebitali bimu, era ng'agaba n'ebirabo bya Mwoyo Mutuukirivu nga bwe yayagala.
Omukulu w'obulokozi
5Katonda teyawa bamalayika kufuga nsi gye twogerako, egenda okubaawo. 6Naye omu, waliwo w'akakasiza mu byawandiikibwa, ng'agamba nti:
“Omuntu ataliiko bw'ali,
lwaki omulowoozaako?
Era omuntu obuntu,
lwaki omulumirwa?#Laba ne Zab 8:4-6
7Wamutonda n'abulako katono
okwenkana bamalayika.
Wamutikkira engule
eyeekitiibwa n'ettendo,
n'omuwa okufuga
ebintu byonna bye wakola.
8Ebintu byonna
wabiteeka mu buyinza bwe.”
Bwe yassa ebintu byonna mu buyinza bwe, talina kintu na kimu ky'ataamuwa kufuga. Naye kaakano tetunnalaba nga byonna abifuga. 9Wabula gwe tulaba ye Yesu. Olw'ekisa kya Katonda, yakolebwa n'abulako katono okwenkana bamalayika, alyoke afiirire abantu bonna. Tumulaba ng'atikkiddwa engule eyeekitiibwa n'ettendo, olw'okufa kwe.
10Katonda eyatonda ebintu byonna era abibeesaawo, yasiima okuleeta abaana be abangi mu kitiibwa. N'olwekyo yalaba nga kisaanye okutuukiriza omukulu w'obulokozi bwabwe, ng'ayita mu kubonaabona, 11kubanga abo abatukuzibwa era n'oyo abatukuza, bonna balina Kitaabwe omu. Era Yesu kyava takwatibwa nsonyi okubayita baganda be. 12Agamba nti:
“Ndikumanyisa mu baganda bange,
ndikutenderereza mu kkuŋŋaaniro wakati.”#Laba ne Zab 22:22
13Era agamba nti:
“Nja kwesiganga Katonda.”
Era yeeyongera n'agamba nti:
“Ndi wano n'abaana,
Katonda be yampa.”#Laba ne Yis 8:17,18
14Kale abo Yesu b'ayita abaana nga bwe bali abantu, naye yennyini yafuuka omuntu nga bo. Yakola bw'atyo, alyoke asobole okufa, era mu kufa kwe, azikirize Sitaani alina obuyinza ku kufa, 15bw'atyo alyoke awe eddembe abo bonna abaali abaddu obulamu bwabwe bwonna olw'entiisa y'okufa. 16Mazima, bamalayika si be yajjirira okuyamba, wabula yajjirira kuyamba bazzukulu ba Aburahamu. 17Kyeyava afaanana nga baganda be mu byonna, alyoke aweereze Katonda nga Ssaabakabona ow'ekisa era omwesigwa, asonyiyisa abantu ebibi byabwe. 18Era kaakano asobola okuyamba abo abakemebwa, kubanga ye yennyini yakemebwa era n'abonaabona.
Currently Selected:
ABEEBUREEYI 2: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.